TOP

Omugole eyaggya omuliro afudde

By peter ssaava

Added 19th May 2016

Grace Nyanzi Nabuule, muka Paasita Joseph Nyanzi, owa Excellent Church e Nansana, baamwokedde mu nju mu kiro ky’Olwokuna lwa wiiki ewedde mu Ochieng Zooni e Nansana n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago gye yafiridde eggulo.

Mugole1 703x422

Omusumba ne mukyala we ku mbaga.

Bya PETER SAAVA

ABENG’ANDA za muk’omusumba w’e Nansana eyayokeddwa mu nju wiiki ewedde, bakukkulumidde poliisi nti omuntu waabwe afudde terina kya maanyi ky’ekozeewo ku kuyigga batemu.

Grace Nyanzi Nabuule, muka Paasita Joseph Nyanzi, owa Excellent Church e Nansana, baamwokedde mu nju mu kiro ky’Olwokuna lwa wiiki ewedde mu Ochieng Zooni e Nansana n’atwalibwa mu ddwaaliro e Mulago gye yafiridde eggulo.

Mu kusaba okwabadde ku kkanisa ya bba eggulo, omusumba Steven Musisi, omu ku booluganda lw’omugenzi, yagambye nti ensonga z’okwokya Grace, poliisi ezikutte mu ngeri etematiza.

 musumba wakati ngakaabira mukyala we u ddyo ye musumba ondo Omusumba wakati ng’akaabira mukyala we. Ku (ddyo) ye musumba Mondo.

 

Yagambye nti ekisooka beekunya nga bayitiddwa okuzikiriza omuliro ate n’omuntu waabwe bukya agenda ku kitanda, atuuse kufa nga tewali ky’amaanyi poliisi ky’ekozeewo ku kuyigga abaamwokya.

Yawagiddwa musumba munne, Joseph Lwanyaga eyagambye nti oluvannyuma lwa poliisi y’e Kawempe okujja ng’omuntu waabwe amaze okwokebwa, baagibuuza ku ngeri gy’egenda okukwatamu omusango, n’ebajuliza poliisi y’e Nansana kwe yagatta okubalabula obutagipakusa wabula bagikwate na bwegendereza.

“Omuntu waffe atuuse kufa nga teri kimmuka kuva eri poliisi era tetuli bamativu,” bakira abasumba bwe bakkaatiriza. Grace, abadde akola mu Pope Paul Memorial Hotel mu Ndeeba, waakuziikibwa leero ku ssaawa 8:00 ez’olweggulo e Kapeeka mu disitulikiti y’e Nakaseke.

Wagenda kusookawo omukolo gw’okusaba ku Excellent Church ogusuubirwa okukulemberwa Omusumba Robert Kayanja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...

Dvq8ouzwkaakba8 220x290

Awagidde eky’okusimbawo Museveni...

SSENTEBE w’amatabi ga NRM agali ebweru wa Uganda, Al Haji Abbey Walusimbi awagidde ekyasaliddwaawo akakiiko ak’oku...

Letter002pix 220x290

Abaserikale ba poliisi y'oku mazzi...

ABASERIKALE ba poliisi erawuna ennyanja bataano bagudde mu mazzi eryato mwe babadde batambulira nga bali ku mirimu...