TOP

Babakutte n’amasanga ga bukadde 120

By Joseph Makumbi

Added 19th May 2016

Okusinziira ku Laban Muhendo omwogezi w’ekitongole kya NRCN, Tumwebaze ne munne baabakwatidde ku Mackie’s Restaurant e Kamwokya we baabadde balindidde omuguzi.

Masanga1 703x422

Tumwebaze eyakwatiddwa

Bya JOSEPH MAKUMBI NE HENRY KASOMOKO

EKITONGOLE kya gavumenti ekirabirira ebyobugagga by’eggwanga ekya National Resource Conservation Network (NRCN) kikutte ababadde bakukusa amasanga g’enjovu agabalirirwamu obukadde 120.

Abaakwatiddwa ye Richard Tumwebaze 27, maneja w’ebbaala emu e Ntebe ne Julius Mugume 40, omuserikale w’eggye erikuuma pulezidenti nnamba 74405SFCB.

Baasangiddwa n’amasanga mu kakutiya aka kyenvu ebitundutundu 12 ebibalirirwamu obukadde 120 nga gaweza kkiro 30.

Okusinziira ku Laban Muhendo omwogezi w’ekitongole kya NRCN, Tumwebaze ne munne baabakwatidde ku Mackie’s Restaurant e Kamwokya we baabadde balindidde omuguzi.

Bagguddwaako omusango gw’okukukusa ebintu ebimenya amateeka ku SD 59/17/05/2016 ku poliisi ya Kira Road.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wine 220x290

Baze andekedde omwana gwe twazaala...

OMUSAJJA anziruseeko n’andekera omwana gwe twazaala ng’aliko obulemu ng’agamba nti ewaabwe tebazaala bali mu mbeera...

Ssenga1 220x290

Mukyala wange yaba ki?

NNINA omukazi naye twegatta naye luutu emu yokka n’akoowa. Kino kiva ku ki? Ye mukyala wange yaba ki?

Afandelameckkigozingannyonyola 220x290

Poliisi yeegaanyi okukwata abakuba...

Poliisi yeegaanyi okukwata abakuba eza Bobi Wine

Yiga 220x290

Ebiwalirizza Paasita Yiga okuddukira...

PAASITA Yiga Mbizzaayo nga tannasitula kugenda South Afrika, yasoose kutunda makaage agali e Mmengo era gwe yagaguzizza...

Waaka 220x290

Embwa 10 ziridde omwana emisana...

EKIKANGABWA kibuutikidde abatuuze b’e Kyengera mu zooni ya Mugongo ‘B’ ekisangibwa mu Wakiso, embwa bwe zikkakkanye...