TOP

Eddakiika 40 Besigye ze yamaze ku kkooti

By Joseph Mutebi

Added 19th May 2016

Omulamuzi yakoonye ku mmeeza, n’ayimuka ng’akabonero akalaga nti kkooti agyabudde. Kino yakikoze nga Besigye akyalemeddeko okuggusa engeri embi gy’ayisibwamu.

Besigyenakawacourt11 703x422

Besigye mu kaguli

Bya EDWARD LUYIMBAAZI  NE JOSEPH MUTEBI

OMULAMUZI olwamaze okusoma omusango gw’okulya mu nsi olukwe, Besigye yayanguye mangu okuwanika omukono n’amulaajanira nti: Oweekitiibwa Omulamuzi, nzikiriza mbeeko kye njogera.

Nnina embeera enzibu gye mpitamu ate ng’embeera eno entuusiddwaako okumala emyaka etaano egiyise. Nnaakaggulwako emisango 50 mu bbanga eryo naye nga ku misango gino bansibira mu kaduukulu ka poliisi, tebantwala mu kkooti.

 

 

Ne lwe bantutte mu kkooti, sikkirizibwa kubaako kye njogera era ekyewuunyisa n’emisango egimu gigobebwa nga sseewozezzaako.

Dr. Kizza Besigye yayongedde okuttottolera kkooti eyabadde esirise be cce nti: Okulonda nga kuwedde, poliisi yankwata n’ensiba okumala ennaku 45 mu kifo ekitakkirizibwa mu mateeka!

 

 

Ntulugunyiziddwa nnyo n’okukolwako ebikolwa eby’effujjo kyokka ng’abakikola teri abagambako. Yannyonnyodde nti lwe yakwatibwa ku Lwokusatu nga May 11, yateekebwa mu mmotoka (vvaani) ya poliisi ne bagenda nga bamulinnyeeko ebigatto era emmotoka okuyimirira ng’alaba ali Nalufenya ku poliisi.

Yaggalirwa mu kaduukulu ka poliisi mwe yasula era n’akeezebwa matulutulu ne bamuteeka mu kamotoka ke kamu ne bamutwala ku kisaawe ky’ennyonyi e Jinja ne bamulinnyisa ennyonyi ya poliisi eyamutwala e Moroto.  

 

 

Omulamuzi James Eremye Mawanda Jumire mu kiseera ekyo yabadde asirise ng’awuliriza, wabula nga tawandiika era Besigye yabadde akyattottola, omuwaabi wa gavumenti Doreen Elima n’ategeeza omulamuzi nti: Oweekitiibwa Omulamuzi, omuwawaabirwa by’ayogera alina kubyogerera mu kkooti enkulu.

Kkooti eno terina buyinza kuwulira musango guno na kwewozaako era okukunnyonnyola nga naawe towandiika, kimala okukkaatiriza kye njogera. Omuwawaabirwa omuwadde omukisa okufuula kkooti olukung’aana lwa bannamawulire kubanga be bokka abawandiika by’ayogera.

 

 

Besigye yayingiddemu mangu n’agamba nti by’annyonnyola omulamuzi tebikwata ku musango ogumuvunaanibwa, wabula bikwata ku bulamu bwe n’embeera emenya amateeka gye bamuyisaamu.

Omulamuzi yasazeewo Besigye agende mu maaso era n’ayongera okulambika nti, emisango gy’okulya mu nsi olukwe gimujwetekebwako mu bugenderevu okumumalako eddembe, era avunaanyizibwa ku kunoonyereza ku buzzi bw’emisango mu poliisi (gw’ataayogedde mannya) nti yamugamba maaso ku maaso nti agenda kugimussaako aboneebone nagyo.

Yayongeddeko nti: Poliisi entulugunya mu bugenderevu era okumanya basusse, ne mu kkomera gye nkuumirwa basindikayo abaserikale baabwe ne bantulugunyizaayo.

 

Bwe yatuuse awo, Omulamuzi kwe kumukomako n’amugamba nti okusinziira bwe kiri nti by’ayogera tebikwatagana na musango oguli mu ddiiro, ensonga ezo alina okuzitwala mu kkooti enkulu erina obuyinza okuwulira omusango ogwo.

Omuwaabi wa gavumenti yayingiddemu okukkaatiriza nti engeri fayiro gye baakagifuna okuva e Moroto gye baasooka okusibira Besigye, bakyagyetegereza n’okwongeramu obujulizi era n’asaba omulamuzi abawe obudde obuwerako nga Besigye ali ku limanda. Besigye yawanise omukono era n’atandikirawo okuwakanya eky’omuwaabi wa gavumenti, wabula

Omulamuzi n’amusirisa nga bw’amutegeeza nti ensonga ze waakuziweereza mu kkooti enkulu. Yawadde olwa June 1, omwaka guno bakomyewo Besigye okumusomera emisango gy’okulya mu nsi olukwe egyamuggulwako nga May 13, 2016 mu kkooti y’e Moroto.

Omulamuzi yakoonye ku mmeeza, n’ayimuka ng’akabonero akalaga nti kkooti agyabudde.

Kino yakikoze nga Besigye akyalemeddeko okuggusa engeri embi gy’ayisibwamu, era amangu ago abaserikale b’amakomera ne bamuggyawo okumuyingiza akamotoka k’amakomera okumuzza e Luzira ku limanda.

EBIRI MU MUSANGO:

Oludda oluwaabi lwategeezezza kkooti nti wakati wa February 20, ne May 11, 2016 Besigye yasinziira mu bitundu bya Wakiso ne Kampala ne yeerangirira ku Bwapulezidenti bwa Uganda mu ngeri emenya amateeka.

Mu nnaku zeezimu ezo yayita abantu babeerewo ng’alayira era yakuba ekirayiro nga bw’atandise okukola nga Pulezidenti ne kisaasanyizibwa ku mikutu egy’enjawulo. Baagasseeko nti nga April 7, 2016 ng’ali mu makaage e Kasangati yalangirira nga bw’agenda okukola kabineti ye (olukiiko lwa Baminisita), ekikontana n’amateeka.

Kuno yagattako okukunga abantu okujeemera gavumenti eyaweebwa obuyinza obuviira ddala mu ssemateeka. Mu kweyanjula, Shifrah Lukwago yeeyanjudde nga looya wa Besigye wabula Omulamuzi bwe yabuuzizza omuwawaabirwa oba akkiriza kigende ku likodi nti ono ye looya we, Besigye n’akigaana ng’agamba nti tebannamuwa mwagaanya gwogera ne balooya be okubawa ebiragiro era awo kwe kutandika okwennyonnyolera embeera gy’ayitamu.     

 

.Eby’okwerinda byakedde kunywezebwa ku makubo gonna agayingira ku kkooti e Nakawa. Mwabaddemu amagye, poliisi erwanyisa obutujju, ey’obujagalalo ne bambega.

.Besigye yatuusiddwa ku kkooti ku ssaawa 1:48 ez’oku makya n’ayingizibwa mu kaduukulu ka kkooti mwe yamaze eddakiika 13. Poliisi yayazizza kkooti n’okuteeka abaserikale ku miryango egy’enjawulo. 

Ku ssaawa 2:01 yayingiziddwa mu kkooti n’asooka atuula awateekebwa abasibe. Yabadde yeetooloddwa abaserikale b’amakomera. Yabuuzizza ku bantu babiri bokka okuli ne Shifra Lukwago kyokka ab’amakomera ne bamukugira okubuuza ku bantu era kino n’akiwakanya.

 

Ku ssaawa 2:13 Omulamuzi yayingidde era n’asoma nti: Rtd. Col. Kizza Besigye ow’emyaka 60, omutuuze w’e Kasangati–Buyinja Zooni avunaanibwa okulya mu nsi olukwe.

Yayingidde mu kaguli ne bamusomera ebikwata ku musango era n’atandika okwerwanako. Ku ssaawa 2:28 kkooti yabadde ewedde, Besigye ne bamuzza ku limanda e Luzira Omuserikale

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mm 220x290

Kkampuni zisaze omusolo ku ‘Mobilemoney...

KKAMPUNI z’amasimu zitandise okussa mu nkola etteeka ly’okukendeeza gwa ‘mobile money’ (Airtel money, Africel Money...

Monicangalagaobutungulubwatunda500webuse 220x290

Ekigwo ekimu tekyandobera kuddamu...

Omulimu gw'okufumba bwe gwanzigwako tekyandobera kutandika kulimira wafunda era kati nasituka dda sirina agoba....

Skull 220x290

Bamukutte n’akawanga

OMUSAJJA eyasangiddwa n’akawanga k’omufu gamumyuse. Abatuuze baamulinye akagere ne bamukwata n’ekisawo mwe yabadde...

Muhangi3 220x290

Muhangi akkirizza okusisinkana...

OMUGAGGA Charles Muhangi awadde abasuubuzi abakolera ku bizimbe bya Qualicel(Horizoni city) ne Nabukeera (Bazannya...

Zaina2webuse 220x290

Obwakondakita bwamponya ennaku...

Okukola obwakondakita nga ndi mukazi kinnyambye okulabirira abaana bange ate n'okuyiga bwe bakolagana n'abantu...