TOP
  • Home
  • Masaka
  • Ow’emyaka 95 atambuza bigere okulamaga e Namugongo

Ow’emyaka 95 atambuza bigere okulamaga e Namugongo

By Ssennabulya Baagalayina

Added 20th May 2016

Abalamazi baagambye nti baakatambulira ennaku munaana nga basuubira wiiki ejja w’ennaaggweerako nga batuuse e Namugongo.

Pilgrim 703x422

Bya S. Baagalayina

EKIMU ku bibinja by’Abalamazi abatambuza ebigere okuva e Bushenyi kituuse e Lukaya mu Kalungu nga boolekedde Namugongo okwetaba ku lunaku lw’Abajulizi ba Uganda olw’okubaawo nga June 3.

Abalamazi olwatuuse e Lukaya baagenze mu klezia ya St. Jude ne basoma mmisa ng’omuzeeyi ow’emyaka 95, Benard Tibyangye ye yasinze okucamula abantu olw’okutambula olugendo n’atafuna nkenyera yonna.

Abalamazi baagambye nti baakatambulira ennaku munaana nga basuubira wiiki ejja w’ennaaggweerako nga batuuse e Namugongo.

Jovita Busingye eyakulembedde abalamazi yagambye nti, baasimbula abantu 14, nga bonna bakyali balamu bulungi.

Tibyangye yategeezezza nti gu no mulundi gw’okusatu ng’alamaga e Namugongo ku bigere n’agamba nti kino akisobodde kuba yeekiririzaamu nti olugendo alusobola.

“Bwe nnalaba nga mmazeeko omulundi ogusooka nakkiriza nti ddala nnina embavu. Nnasalawo okwebonereza ng’Abajulizi bwe beewaayo ne battibwa ate n’okwebaza Katonda okumpangaaza nga ndi mulamu bulungi,” Tibyangye bwe yakkaatirizza.

Abalamazi abalala baalaze obuvumu nti we baatuukidde e Lukaya ng’ebigere tebinnazimba ate nga tebalina nkenyera yonna mu mibiri ddala bajja kutuuka e Namugongo nga balamu basobole okwetaba mu mmisa ey’ekitiibwa ku lunaku lw’Abajulizi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Funayo 220x290

Abantu 15,000 basuliridde kusengulwa...

ABATUUZE basoba mu 15,000, abali ku ttaka eririko enkaayana mu munisipaali y’e Njeru e Buikwe emitima gikyabeewanise...

Talingirizakakozibakolanebesasulawebuse 220x290

Gwe ayagala okulekulila omulimu,...

By'olina okutegeka nga tonnalekulira mulimu oleme okwejjusa ng'otuuse mu nsi

Bugingo 220x290

Bugingo bamuyise ku poliisi ne...

PAASITA Aloysius Bugingo avudde ku poliisi ya CPS mu Kampala nga bimusobedde olw’obukwakkulizo poliisi bwe yamutaddeko...

Linda 220x290

Paasita Serebe aleppuka na bbanja...

OMUSUMBA w’Abalokole Bp. Stuart Serebe owa Christian Heritage Church esangibwa e Mbuya yattulukuse entuuyo nga...

Anita 220x290

Bebe Cool aleese amaanyi: Atuusizza...

OMUYIMBI Bebe Cool aleese amaanyi!, Nga yaakamala okutuusa kapyata ekika kya Land Cruiser V.* ZX Model 2019 gy’agamba...