TOP

Abazze okubba mu super market battiddwa

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2016

Abazze okubba mu super market battiddwa

Sup1 703x422

Nsabimaana ng’alaga emmundu eyakwatiddwa n’ababbi.

ZAABADDE zaakakoona essaawa 3:00 ez’ekiro abakozi ba EBS supa maketi nga bateekateeka okuggalwo nga n’abakola mu ssente ku kawunta bwe babala ssente ezikoleddwaawo, kwe kuwulira eddoboozi eribaduumira nti, “kale buli omu taseguka waali” ekyaddiridde kwekuwulira emmundu ekookingibwa.

Abazigu basatu abaabadde mu bikooti ebiwanvu baabadde bayingidde supermarket eno esangibwa mu kabuga k’e Masanafu era nga beesudde amabanga ng’ow’emmundu agiwanise mu bbanga nga bw’ayogera oluswayiri nti “nyamaza.” Omu yagenze ku kawunta n’atandika okuyoola ssente nga bw’ayiwa mu gusawo ogunene gwe baabadde nagwo.

David Tugume omu ku bakozi mu Supermarket eno agamba ogusawo gwabaddemu ssente endala ze baasoose okuggya ku mukozi wa Mobile money akolera ku lubalaza lwa Supermarket eno kuba olwatuuse ne bawamba omukuumi w’ekifo ne balagira owa ‘Mobile money’ okubawa ze yabadde alinawo olwo ne bayingira munda okwongera ku munyago gwabwe.

Olwajjuza ekisawo nga bakakasizza nti seefu zikalidde bulungi kwe kulagira abakozi okugalamira wansi olwo ne batandika okufuluma omu kw’omu. Eyabadde avuga pikipiki ye yasoose n’alinnya olwo eyabadde n’emmundu n’addako ow’ekisawo kya ssente n’aba emabega.

Olwafulumye, abakozi ba Supermarket ne balaya enduulu. Kino kyaleetedde owa pikipiki n’emmundu okupakuka ne basimbula nga n’ow’ekisawo bw’abawondera.

Tugume agamba olwalabye ow’ekisawo ng’adduka n’amugoba era yabadde ng’agenda okumutuukako n’amutega n’agwa olwo ne batandika okweriga. Mu kaseera katono abadduukirize baamwegasseeko ne bamukuba okutuusa lwe baamusse.

Banne bwe baabadde pikipiki baagivuze boolekera luguudo lwa Northern Bypass nga badda e Busega. Atwala poliisi y’e Nateete Joseph Nsabimaana yategeezezza nti ku ssaawa nga 3:30 ez’ekiro yakubiddwa essimu ng’ategeezebwa ku babbi b’emmundu abaabadde ku bodaboda nga bava e Masanafu nga boolekedde Bypass badda e Busega. Agattako nti yafunye basajja be ne bateega ku nkulungo kyokka baalinze nga tewali kye balaba.

“Twakitegedde luvannyuma nti ababbi bano batukubye ekimmooni ne bava ku kkubo ne badda ku lw’ettaka oludda mu Kibumbiro. Nsabimaana agamba nti ebyembi, ababbi bano baasanze abavubuka ba “Crime preventer” abaabeekengedde olw’endiima gye baabadde bavuga kwe kugezaako okubayimiriza.

Bwe baasaze ku misinde kwe kuggyayo emmundu ne bagibasongamu babakube kyokka kirabika emmundu ng’eriko obuzibu amasasi ne gatafuluma. Wano abaabadde babateeze we baafunidde obuvumu ne babavumbagira. Abantu bwe baaweze nga babalaba n’emmundu baategedde babbi ne babakuba ne babatta.

Nafunye essimu endala nti waliwo ababbi b’emmundu e Kibumbiro abaabadde battiddwa abatuuze. Natuuseeyo ne nsanga nga baabadde ku pikipiki era wano we nategeeredde nti be babbi be baabadde bateeze. Baabadde batambulira ku pikipiki nnamba UDN 812B ekika kya Bajaj emmyuufu.

Omu yabadde ne kaadi y’ekibiina kya Boda Boda 2010 nga kuliko amannya Emannuel Habimaana ng’eraga nti akolera ku Superior Complex ku luguudo lwa Ben Kiwanuka mu Kampala.

Baabadde n’emmundu ennene ekika kya SAR nnamba UGPOL 22014251. Nsabimaana yategeezezza nti bwe baakebedde mu fayiro zaabwe, kwe kuzuula nti emmundu yali yabbibwa ku muserikale w’ekitongole ekikuumi ku ssundiro ly’amafuta erya Fuelex e Nalukolongo eyabbibwa nga May 15, 2015.

BaAsoose kugezaako kubb a Wakaliga Nsabimaana yagasseeko nti oluvannyuma baakitegedde nti abattiddwa era be baabadde bagezaako okulumba Supermarket emu e Wakaliga ku mmande.

Nnannyini Supermaket eyali ebbibwa abeera mu bitundu by’e Busega bwe yatuuse mu kifo awattiddwa ababbi ye yabategeezezza ng’amaze okubeetegereza n’agattako nti wabula nga bbo baatasibwa omukuumi waabwe.

Emmundu yasangiddwaamu amasasi abiri, Nsabimaana yategeezezza nti kyokka gaabaddeko akamogo okusinziira ku ndabika yaago nga kirabika baagezezzaako okugakuba naye emmundu n’egaana. Omusango ku buzigu buno gwagguddwaawo ku fayiro SD 74/18/05/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda