TOP

Poliisi esomesezza ku butabanguko mu maka

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2016

Poliisi esomesezza ku butabanguko mu maka

Po1 703x422

POLIISI ye tundutundu ly’ebuvanjuba bwa Kampala ekola ku nsonga z’amaka n’abaana  ng’ekulembeddwamu SP Catt Nandi  agitwala mu kitundu kino, evumiridde abazadde abalwanagana n’abaana  ne beerangira ebisongovu ekireetedde obutabanguko mu maka okweyongera.

Nandi bino abyogeredde Seeta mu Mukono  poliisi ekola ku nsonga z’amaka bwebadde erambula abatuuze baayo , ng'ekulembedde n’omulamwa ogw'okutegekamu obulungi abaana mu bissera by'oluwummula.

 Agambye nti  obutabanguko mu maka bweyongedde, ng’abaana badduka awaka, bazaala nga tebanneetuuka, abazadde battingana naye ng’obuzibu buviira ddala waka abantu abo gye bawangaalira ekireetedde obutabanguko mu maka era nga betaagira ddala okusomesebwa.

Bano  beetoolodde seeta yonna nga bagenda babunyisa omulamwa gwabwe , ne balongoosa obutale bw’eseeta bwombi n'ebitundu ebiriranyewo nga bwebagenda basomesa abantu ku buyonjo n’okwewala obutabanguko mu maka.

Guston Twinamasiko atwala poliisi ya Seeta agambye nti kino kikoleddwa okwongera  enkolagana mu poliisi n’omuntu w’abulijjo nti ne bwebabeera bafunye obuzibu  mu maka baleme kutya poliisi wabula baleete nga ensonga zaabwe bayambibwe.

 Agambye nti bagenda kutalaga ebitundu eby’enjawulo nga bagenda basomesa abantu ku ngeri y’okwewalamu obutabanguko mu maka.

Samson Mwebe  ssentebe w’akatale ka Aniyali amanyi  e seta era nga keekamu kukayonjeddwa asiimye nnyo poliisi olw’omulamwa gwereese era n’abasaba obutakoma awo wabula bajje nga babalambuleko mu ngeri eyo enkolagana egende mu maaso

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kibowa13webuse 220x290

Abakyala mwekolemu ebibiina mufune...

Abakyala b'e Mukono bakubiriziddwa okwekolamu ebibiina bafune ku ssente za Gavumenti ezitaliiko magoba n'okuwagira...

Acaya1webuse 220x290

Omuyizi akoze mmotoka ne yeewuunyisa...

Omuyizi Francis Ocaya akoze mmotoka ne yeewuunyisa Ababaka ba Palamenti ne bamusuubiza omulimu

Abamukubamusigansimbiabataddemuensimbiokuzimbazikabuyonjongabawayaamunabamukubaanawebuse 220x290

Temusimbira nkulaakulana kkuuli...

Abagirimaani bazimbidde essomero ly'e Ntenjeru kaabuyonjo ey'omulembe

Omulyangogwambabaziogwateeredwaakoebyokoolawebuse 220x290

Ebigambibwa okuba ebyokoola bisasamazza...

Omusaayi ogumansiddwa ku luggi lw'omutuuze nga kuliko ebbaluwa etiisatiisa okufa okumusemberedde bisattizza ab'e...

Abolukiikolwamukonodevelopmentforummdfngabatandiseokukolaemirimugyabwe 220x290

Olukiiko oluyamba Mmeeya okukulaakulanya...

Olukiiko olw'okuyambako Mmeeya w'e Mukono okukulaakulanya ekibuga lusomeseddwa ku nkola y'emirimu gyalwo