TOP

Bbebi bagenda ku mutemako omukono lwa kkansa

By Musasi wa Bukedde

Added 20th May 2016

Bbebi bagenda ku mutemako omukono lwa kkansa

Be1 703x422

Nanteza agambibwa okukwatibwa akawuka ka kansa

OMWANA Shabilah Nanteza  7 eyava ku ssomero ng’azimbye  omukono omwaka oguwedde, embeera ye esajjuse abasawo okuva mu ddwaliro  ekkulu e Mulago bwe bakamutemye nti gugenda kutemwako olw’akawuka ka kkansa akagusensedde.

Margret Nakaccwa maama w’omwana ono  ng’abeera Kirinnya Namataba agamba nti omwana we  yava awaka nga mulamu, naye bweyadda okuva  ku ssomero Lya MK Learning centre e Kirinnya gyeyali asomera  ekibiina ekisooka, yakomawo guzimbye.

Yamutwala mu ddwaliro lya Koso e Ntebe ne bamulongoosa nga baamunuunamu obutole bw’omusaayi era ne bamusiibula ne bamulagira adde awaka bamukozese dduyiro  balabe embeera bwenabeera.

Bwennalaba embeera yeyongera kubeera mbi, ne mutwala e Mulago olwamulaba ne bantegeeza nti oyo alabika kkansa era mutwale bamusaleko akanyama , nti naye  olunaamala okukakasa omukono bagenda kugutemako.

Nanteza atandise okugenda ng’azimba ebitundu ebyenjawulo okuli omutwe, omukono gweyongedde paka mu bibegaabega , n’omugongo  era takyala mmere okuleka okunywa obunywi. Asabye baamuzira kisa abalina obuyambi bwonna bamuyambe ku 0780264200, 0772060911 oba 0752390840  

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima