TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Saleh abayimbi abakwasizza eyali Katikkiro Walusimbi

Saleh abayimbi abakwasizza eyali Katikkiro Walusimbi

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2016

Gen. Salim Saleh alonze eyaliko Katikkiro wa Buganda, Ying. JB Walsimbi okuwa amagezi ag’ekikugu ku kizimbe ky’abayimbi ne bannakatemba kye baagala Gavumenti ebazimbire.

Baga 703x422

Ying. JB Walusimbi (ku ddyo) mu lukiiko lwe yabaddemu n’abayimbi ne bannakatemba ku Ambiance e Bukesa, Kampala ku Lwokuna. Ku kkono ye Sophie Gombya, Geoffrey Lutaaya ne James Wasula omumyuka wa Kaggo era akulira UPRS.

Gen. Salim Saleh alonze eyaliko Katikkiro wa Buganda, Ying. JB Walsimbi okuwa amagezi ag’ekikugu ku kizimbe ky’abayimbi ne bannakatemba kye baagala Gavumenti ebazimbire.

Walusimbi yabasinkanye ku Club Ambiance e Bukesa ku Lwokuna n’abawabula ku kizimbe ekinaayitibwa National Entertainment Centre.

Yabagambye nti okuvaayo ne pulaani entuufu, balina kusooka kufuna ttaka eriweza yiika nga 20 gamba ng’e Seeta ku lwe Jinja, Lubowa ku lw’e Ntebe oba e Katende ku lw’e Masaka.

Yabasabye basale amagezi g’okufunamu ssente kuba obuwumbi 3 bwe basaba Saleh, tebumala na musingi!

Olukiiko lwetabyemu Tonny Ssempijja owa UPMET, James Wasula ow’ekibiina ekibalwanirira (UPRS), abakulira Andrew Benon Kibuuka ssaako; Geoffrey Lutaaya, Sam ne Sophie Gombya, Dr Tee, Matiya Luyima, Haji Ashraf Ssemwogere n’abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mathiaskatamba 220x290

Katamba alondeddwa ku bwassentebe...

Katamba alondeddwa ku bwassentebe bwa Uganda Bankers Association

Multi10 220x290

Aba Multiplex bazzeemu okukola...

Aba Multiplex bazzeemu okukola lisiiti ne zinyooka

Ken1 220x290

Sipiika alagidde ministry ya Foreign...

Sipiika alagidde ministry ya Foreign affairs okuyamba Kenzo akomewo eka

Jud1 220x290

Jude Color Solution ekakasiddwa...

Jude Color Solution ekakasiddwa okufulumya masks

Images 220x290

Biibino ebibuuzo ebikyebuuzibwa...

Abantu abakwatibwa bajjanjabibwa kumala bbanga ki okuwona? Kisinziira engeri obulwadde buno gye bubeera bukukosezzaamu....