TOP

Omukazi asuulidde omuyimbi Mesach Ssemakula omwana ku siteegi

By Musasi wa Bukedde

Added 21st May 2016

OMUKAZI alumbye omuyimbi Mesach Ssemakula ku siteegi n’amusuulira omwana ng’agamba nti amulemeredde okujjanjaba ayagala buyambi.

Mwana 703x422

Mesach ng’abala ssente ze baawadde Nabukenya. Wansi ye mwana we eyakonziba gwe yaleese ku siteegi.

OMUKAZI alumbye omuyimbi Mesach Ssemakula ku siteegi n’amusuulira omwana ng’agamba nti amulemeredde okujjanjaba ayagala buyambi.

“Omwana wuuyo yandwalako ssebo, sirina bujjanjabi taata nnyamba,” Saidat Nabukenya eyavudde mu bantu wakati mu kiseera Ssemakula we yabadde ayimbira bwe yategeezezza oluvannyuma lw’okumusuula ku siteegi.

Byabadde Kabuusu ku bbaala ya MM abayimbi ba Golden Band gye baabadde ku Ssande nga basanyusa abantu.

Ssemakula kyamuwalirizza okusirisa endongo n’akwata mu nsawo n’amuwa emitwalo 30 olwo n’asaba abantu nabo abaamuyiiridde ssente ne baweza akakadde.

Nabukenya yategeezezza nti omwana we ono Safi ki Mpaga, 8 yakwatibwa omusujja ne gumukonzibya ate bba Idi Ssenoga yamuleka mu muzigo e Kyengera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana