TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Oluvannyuma lw'okuwangula obwa sipiika Kadaga agenze ne yeewonga mu bajjajjabe

Oluvannyuma lw'okuwangula obwa sipiika Kadaga agenze ne yeewonga mu bajjajjabe

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2016

Oluvannyuma lw'okuwangula obwa sipiika Kadaga agenze ne yeewonga mu bajjajjabe

Kad1 703x422

piika Kadaga (wakati) n’abeekika kya Baise Igaga nga bambuka ku mbuga ya Mabonyi.

OLUVANNYUMA lw’okulya obwasipiika bwa Palamenti ya Uganda, Rebecca Alitwala Kadaga agenze ne yeewonga mu bajjajja be n’okubeebaza olw’okumu-sobozesa okulya akalulu.

Okuwonga kuno akukoledde ku lusozi Nyenda mu mbuga ya Mabonyi e Iganga n’alumba abavumirira ebyobuwangwa nti bya sitaani.

Olusozi Nyenda y’ensibuko y’abeekika ky’Abaise Igaga, Kadaga mw’ava.Lusangibwa Kabira mu ggombolola y’e Nakigo mu disitulikiti y’e Iganga era ng’oggyeeko ebyobuwangwa, era lwa bulambuzi.

Kadaga yawerekeddwaako abamu ku bakulu b’ekika ky’Abaise Igaga okutuuka ku mbuga ya Mabonyi, ne baggyamu engatto okulinnya amadaala agatuukayo ne basaba emikisa n’okusuulawo ebigali (ensimbi) olwo eηηoma Nalufuka n’erawa (kyokka eno bakira tebakkirizaayo ba kkamera).

Oluvannyuma Kadaga yavudde ku lusozi n’agenda mu kusaba kw’okwebaza Katonda kwe yategese e Idudi mu Iganga.

Okusaba uno kwetabyeko bannaddiini abaakulembeddwaamu Omulabirizi wa Busoga, Rt. Rev. Moses Samson Naimanhye, ssaako bamaseeka abaakulembeddwa Regional Khadi wa Busoga, Sheikh Sinan Muwanika

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda