TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Haji Kiyimba ow’e Nsangi alumbiddwa ekimbe ekikambwe; Byayogera tebitegerekeka!

Haji Kiyimba ow’e Nsangi alumbiddwa ekimbe ekikambwe; Byayogera tebitegerekeka!

By Musasi wa Bukedde

Added 23rd May 2016

Ensonda mu ba famire ya Kiyimba zaategeezezza nti abasawo ku Case Clinic baanoonya obulwadde ne bubula, abamu ku benganda kwe kuwa amagezi nti olumbe luganda, lwetaaga kujjanjabirwa waka sso si mu ddwaaliro.

Kiyimba1 703x422

Hajji Kiyimba

Bya Basasi Baffe

SSENTEBE w’eggombolola y’e Nsangi, Haji Abdul Kiyimba alumbiddwa ekimbe nga kati by’ayogera tebikwatagana.

Ekimbe ekigwiridde Haji Kiyimba kituusizza abamu ku behhanda n’emikwano okugamba nti lumbe luganda nga kino bakiggya ku ky’abasawo mu malwaliro ag’enjawulo gye baamusoosezza okubulwa obulwadde sso ng’embeera ye yeeyongera kubiggya.

Ng’oggyeeko okwogera ebitwatagana, Haji Kiyimba tasobola kuyimirira wadde okutuula era asannyaladdeko oludda olumu, ekyongedde okwewanisa aba famire n’ab’emikwano emitima.

Obulwadde, Haji Kiyimba bumulumidde wiiki nnamba nga yasooka kutwalibwa mu ddwaaliro lya Case Clinic ku Buganda Road kyokka embeera n’eyongera kubeera mbi olw’engeri gye yali alogootona ebigambo ebitategeerereka omwali n’olulimi Oluswayiri.

Ensonda mu ba famire ya Kiyimba zaategeezezza nti abasawo ku Case Clinic baanoonya obulwadde ne bubula, abamu ku benganda kwe kuwa amagezi nti olumbe luganda, lwetaaga kujjanjabirwa waka sso si mu ddwaaliro.

 

Hajji Kiyimba ( ku kkono mu kkooti) ku mukolo ogumu gye buvuddeko.

“Abasawo baamwekebejja naye nga tebalina kye balaba, awo aba famire ne bakkiriziganya bafune ekifo ekyenjawulo abakugu we baba bamujjanjabira wabula abalala ne bakiwakanya ne basalawo okumussa mu maka ge ag’e Busega, w’ajjanjabirwa mu kiseera kino.

Mikwano gya Haji Kiyimba omuli n’ebikonge mu Gavumenti n’ebitongole ebyokwerinda naddala Poliisi baatuuseeko mu maka ga Kiyimba e Busega okumusaasira obulwadde.

Abamu ku baatuuseeko ewa Kiyimba ye Alhaj Moses Kigongo, omumyuka wa ssentebe wa NRM era mukwano gwa Kiyimba ow’omunda.

Ensonda zaategeezezza nti Alhaji Kigongo yawadde amagezi omulwadde atwalibwe mu ddwaaliro oba si ekyo atwalibwe mu kifo eky’ekyama asobole okuwummulako kubanga abantu abeeyiwa awaka tebamusobozesa kuwummula.

Abalala kuliko; Amir Sulaiman Kakeeto, akulira Abatabbuliiki b’oku Clock Tower ng’ono y’omu ku bamaseeka ab’enjawulo abali ku lusegere lwa Haji Kiyimba nga bamusomera dduwa asobole okussuuka obulwadde.

Amir Kakeeto yagambye nti embeera ya Haji Kiyimba agenda erongooka n’awakanya ebigambibwa nti yalumbiddwa amajiini oba bulwadde bwa kiganda. Waliwo abantu abamu abaalumirizza nti olumbe olulumba Haji Kiyimba lwamusindikiddwa kuva Tanzania nga lwekuusa ku nsonga za bizinensi.

Eggulo, abavubuka naddala mu Nsangi beecangidde awaka wa ssentebe nga bagamba nti tebayinza kukkiriza mukama waabwe kufa nga balaba be kikwatako bagaanyi okumutwala mu ddwaaliro.

Baaweze enkolokooto nti bwe kineetaagisa, bajja kukozesa ekifuba basitule mukama waabwe bamutwale mu ddwaaliro asobole okufuna obujjanjabi kubanga buli ajja awa magezi gage, ekitalina kye kiyamba okusinziira ku mbeera y’omulwadde bw’eri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Benitez22 220x290

Benitez munyiivu olwa Newcastle...

Newcastle yeggyeeko omutendesi Benitez oluvannyuma lw'endagaano ye okuggwaako.

Oketchinstructinghisstudentswebuse 220x290

Oketch obwavu abugobye na kukola...

Mu kukola fulasika z'embaawo mwe nfuna ssente

Wanikaamaguluwebuse11 220x290

Bw'oyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa...

By'olina okukola okuyamba omuntu azirise nga tonnamutuusa wa musawo okumutaasa obuzibu obuyinza okumutuukako

Lan1 220x290

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero...

Mbogo ne Kibuli beddizza ez'amasomero mu Badminton

Gr2 220x290

Abagambibwa okutta owa Mobile Money...

Abagambibwa okutta owa Mobile Money babazizza e Zzana