OMULIRO gukutte essomero lya Light SS e Kitebi ne gusaanyawo ebintu byabayizi.
Ekizimbe okuli sitoowa ne kompyuta kye kyakutte omuliro ne muggyiramu emifaliso gy’abayizi egisoba mu 100, kkeesi zaabwe ze baaleka baterese nga bagenze mu luwumula omwabadde engoye n’ebitabo.
Ssaalongo Frank Ssentongo, akulira ebyensoma ku ssomero lino yagambye nti omuliro gwakutte ku ssaawa 11.00 era tebannamanya kwe gwaavudde.

Omutuuze eyabadde ayita okumpi n’essomero ye yalabye omuliro guno n’akuba enduulu eyazuukusizza omukuumi ne bakubira ne poliisi ezikiriza omuliro.
Kyokka yagenze okutuuka ng’ekizimbe kisaanyeewo. Bateebereza nti omuliro guno gwandiba nga gwavudde ku masannyalaze oba nga waliwo ow’ettima eyayokeredde essomero ne basaba poliisi okukola okunoonyereza okuzuula ekituufu.

Abayizi ababeera okumpi baayanguye okutuuka ku ssomero kyokka baasanze ebintu byabwe byonna bimaze okusaanawo.
Abasinga obwedda bakaabira ebitabo byabwe kuba bali mu S4, ne bagamba nti baabadde tebamanyi waakugya bitabo kuba obudde obusigaddeyo okukola ebibuuzo butono ddala.

Abayizi n’abazadde we bwazibidde nga bakyagenda ku ssomero okukakasa ekituuse ku bintu byabwe.
Ssaalongo Ssentongo yagambye nti bagenda kukolagana ne poliisi okuzuula ekyavuddeko omuliro guno n’asaba abazadde n’abayizi okubeera abakkakkamu.