TOP

Bazingizza abapoliisi nga babba mu Kikuubo

By Joseph Makumbi

Added 24th May 2016

Eby’okusaba ssente baalabye bigaanyi kwe kulagira Kimwero afulume bamutwale n’aguguba. Bwe yagaanyi okufuluma, n’abaabadde bakungaanye ne batandika okubuuza Mmereyankya ddi lwe yafuuka owa URA.

Mereyankya1 703x422

Mmereyankya ng’atwalibwa ku poliisi.

Bya JOSEPH MAKUMBI ne SAMUEL BALAGADDE

ABASAJJA babiri baayingidde mu dduuka mu Kikuubo nga bawerekerwa abaserikale ba poliisi bana nga bakutte emmundu bali mu byambalo.

Beeyanjudde ng’abakozi b’ekitongole ky’omusolo (URA) abazze okubowa ebintu ebitasasula musolo. Okukkakkana nga basabye enguzi ya bukadde bwa ssente.

Oluvannyuma kyategeerekese nga bonna mukaaga baserikale ba poliisi abeefudde aba URA okunyaga ssente. Abasuubuzi baabataayizza ne babakuba nnyo era amagye we gaatuukidde okubataasa nga batonnya musaayi.

 

  Omusuubuzi Kimwero eyabadde abbibwa.

 

Byatandise mu ttuntu eggulo, Ismael Kimwero omusuubuzi w’omunnyo n’obuveera ku kizimbe kya Edmall mu Kikuubo, bwe yabadde mu dduuka lye abasajja ne bayitawo nga boogera ku ssimu.

Eyabadde asembye emabega yalabudde banne nti waliwo n’omunnyo gwe baabadde bayingizizza.

Baakyuse omulundi gumu ne bayingira edduuka lya Kimwero olwatuuse ne bamutegeeza nga bwe yabadde ayingizizza omunnyo mu bukyamu. Baamulagidde abawe obukadde 6 baleme kubiwanvuya.

Omusuubuzi tamala gata ssente!

Baatandise okwenyoola ne Kimwero ng’agaanyi okubawa ssente akyalowooza eky’okubakolera. Yakutte essimu n’akubira omuntu ng’alinga amulagira amuleetere ku ssente.

Bano baagumikirizza nga balowooza nti omulyo gulabise. Baalabye aluddeyo ne baddamu okumuleega kyokka nga e Kikuubo bwe kitaggwaamu bantu, baatandise okukungaanira ku dduuka lya Kimwero okulaba ogubadde.

Abasuubuzi baludde nga beekengera abafere abeefuula aba URA ne babanyaga. “Baayingidde ne bagamba nti waliwo obuveera obuyingidde muno tubawe obukadde 6 batuleke naye nga nange ssente sirina era twamaze ebbanga nga twenyoola kwekukubira mukwano gwange owa URA ekirungi yabadde kumpi muno n’ajja n’abasangawo,” Kimwero bwe yannyonnyodde.

 mu ku baakwatiddwa mu bubbi  Omu ku baakwatiddwa mu bubbi.

Abazze kwabaddeko abali mu yunifoomu ya poliisi bana n’abalala abali mu ngoye ezabulijjo.

Omu ku basuubuzi baabadde bamumanyi nga Mmereyankya akola ogw’obukessi ku poliisi ya Arua Park era yabadde ne basitoola.

Oluyoogaano lweyongedde abasuubuzi abalala ne bongera okukungaana, abaabadde mu yunifoomu baalabye embeera esajjuka kwe kwemulula ne balekawo abali mu ngoye eza bulijjo.

Eby’okusaba ssente baalabye bigaanyi kwe kulagira Kimwero afulume bamutwale n’aguguba. Bwe yagaanyi okufuluma, n’abaabadde bakungaanye ne batandika okubuuza Mmereyankya ddi lwe yafuuka owa URA.

Ono ne banne baagenze okulaba ng’embeera yeeyongera okubijja ne bafunya ebikonde. Atakulekera naawe tomulekera, abasuubuzi nabo baafunyizza olwo eng’uumi n’enyooka. Nga bakyabafutiza amagye gaayingiddewo nga gali n’aba URA.

Be baasanzeewo bonna nga tekuli mukozi wa kitongole kya URA, baabadde baserikale ba Poliisi. Abaserikale baasoose kuggyako Mmereyankya mmundu.

Baabafulumizza okuva mu akeedi ne babatambuza okubatwala ku ofiisi y’abasuubuzi mu Kikuubo nga bonna bawulubadde.

Kimwero yagambye nti abasajja bano babadde babafudde lusuku nga wiiki ewedde baalumbye edduuka ya Muky. Nankya ku kizimbe kya Rafik mu Kikuubo ne bamubba 1,650,000/-.

Omwogezi w’abasuubuzi mu Kikuubo, Samuel Muyomba Basajjabafiirawala yagambye nti abasuubuzi balina obusungu bungi ku bantu abeefuula aba URA ne babanyagako ssente.

Okusooka baabadde bakutte abantu basatu kyokka omu poliisi n’emuta n’agenda. Yasabye aba URA bwe babeera bazze basooke kutegeeza ofiisi y’abasuubuzi oba LC basobole okugenda mu basuubuzi nga tewali buzibu.

 

URA ENNYONNYODDE:

Agnes Nabwire akulira ebikwekweto mu kitongole kya URA agambye nti be baakutte baabatutte ku URA e Nakawa okwongera okubabuuza bannyonnyole ku bikwekweto bye baabadde bakola nga tebatumiddwa kitongole.

Nabwire yayongeddeko nti abasuubuzi mu Kikuubo mu kiseera kino bamunyungufu ku bigenda mu maaso kubanga aba URA batutte ekiseera nga babalabula ku bantu nga bano. Baababangula ne ku ngeri gye bayinza okuzuula abakozi abatuufu abava mu URA.

Gye buvudddeko URA bwe yali esisinkanye bannamakolero e Kawempe baategeezezza nti waliwo abantu bangi ekiseera kino abeefuula abakozi ba URA ne UNBS abatambula ng’awamu bali n’abantu abali mu yunifoomu z’abaserikale nga beefudde abanoonya ebyamaguzi ebitawadde musolo n’okulondoola omutindo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo