TOP

Ssaalongo avudde ku kyeyo n'akoona amaka n'agoba ne Nnaalongo lwa bwenzi!

By Vivien Nakitende

Added 24th May 2016

SSAALONGO oluvudde ku kyeyo n’akoona amaka ge gonna n’agaleka ku ttaka! Kino akikoze okugoba Nnaalongo we gw’alumiriza obwenzi.

Kyeyo1 703x422

Nnaalongo n’abalongo be ku nnyumba bba gye yakoonye. Waggulu, Ssaalongo ng'akoona ennyumba. EBIFAANANYI B YA VIVIEN NAKITENDE

SSAALONGO oluvudde ku kyeyo n’akoona amaka ge gonna n’agaleka ku ttaka! Kino akikoze okugoba Nnaalongo we gw’alumiriza obwenzi.

Ssaalongo John Nantinda Ssendi abadde ayiiyiza Dubai okuva mu 2010 y’akoze amawano gano.

Yaleka Nnaalongo n’abalongo baabwe ba myezi esatu kyokka olukomyewo mu kifo ky’okumwebaza okukuza abaana, akkakkanye ku maka ge agasangibwa e Wankulukuku n’agakoonawo ng’agamba nti abadde afuna olugambo nti Nnaalongo Olivia Nakirijja abadde ayenda. Nnaalongo Nakirijja agamba:

Ssaalongo okuva bwe yagenda e Dubai abadde tatuweereza buyambi. Nakoma okwogera naye mu myezi egyasooka n’atandika okunnumiriza obwenzi, nga bwe mmunnyonnyola tampuliriza. Yaleka abalongo ba myezi esatu, abasanze balina emyaka etaano naye ansasudde kungoba mu maka ge twagula ffembi!

Bulijjo simanyi nti yakomawo mu Uganda wabula namwekanze mwezi guwedde ng’azze n’ejjambiya antiisatiisa nve mu nju ze oba si ekyo ajja kuntuusaako obulabe.

 naalongo nabalongo nga bali mu kyangaala Nnaalongo n'abalongo nga bali mu kyangaala!

 

Ensonga nazitutte ku poliisi e Wankulukuku ne bamuyita. Twazituulamu n’ategeeza nti takyanneetaaga kuba ngatta obulogo n’obwenzi.

Yayogedde bingi n’ategeeza nti ayagala nveewo ampangisize, bw’anaamala okuzimbawo ennyumba endala ndyoke nkomewo.

Omwezi guno nga gutandika Ssaalongo yaleese ebbaluwa enjingirire nti agiggye mu KCCA ng’emulagira amenyewo ekizimbe ekikadde era n’akoonawo emizigo esatu egisooka.

Nagenze mu KCCA ne bantegeeza nti tagendangayo ne bankakasa nti n’ebbaluwa njingirire. Kino kyampalirizza okuggulawo omusango omulala ku poliisi e Kitebi.

Nnaalongo agamba nti Ssaalongo yagenze mu kkooti ya Mwanga II ng’asaba bamuwe olukusa okubeera n’abaana kyokka abaana tebamumanyi. Katemba yabadde mu kkooti, omulamuzi bwe yayimirizza Ssaalongo n’omusajja omulala n’alagira abalongo basonge ku kitaabwe omutuufu.

 naalongo ngalaga ekifo awabadde ennyumba saalongo gye yaguddeko ekiyiifuyiifu nagikoona ngamulanga bwenzi Nnaalongo ng'alaga ekifo awabadde ennyumba Ssaalongo gye yaguddeko ekiyiifuyiifu n'agikoona ng'amulanga bwenzi

 

Abaana baatangadde ne balemwa okusonga ku Ssaalongo! Kyokka era ayagala kubatwala.

Nga May 23, 2016 twabadde tulina okuddayo mu kkooti kyokka Ssaalongo bwe yalabye kkooti etandise n’asindika bakanyama ne baddamu okumenya ennyumba essatu ezaabadde zisigaddewo.

Zino mwe mbadde nsula n’abaana, kati tusula bweru. Bano abalongo ba mulundi gwakubiri, abaasooka abaali abalenzi baabuuka.

Omusajja ono yankwana nsoma S4 n’anfunyisa olubuto ne nzaala abalongo abaasooka.

Bazadde bange banzizaayo mu ssomero, ne tuddamu ne twagalana kwe kuzaala abalongo bano abaliwo.

Nalowooza nti engeri gye yannemesa emisomo, tulibeera ffembi naye andaze omutima omutemu.

 saalongo ngakoona ennyumba Ssaalongo ng'akoona ennyumba

 

Amaka g’akoona twagagula ffembi nga tukolera e Kibuye ku kkubo nga tutunda bintu ebikozesebwa awaka.

Ennyumba zino twazigula ku eyali landiroodi waffe, Isma Sekimpi ku bukadde 12.

Ssente twaziterekanga ffembi era okugenda ebweru yaleka asasuddeko obukadde musanvu nze ne nsasula ezaasigalayo.

Nagguddewo emisango egiwera ku poliisi e Kitebi n’e Nateete ku fayiro nnamba SD: 35/13/05/16, SD:16/232/04/16 ne CRB84/16 naye poliisi tennyambye wabula ewadde baze bukuumi antulugunye bulungi!

Akulira bambega ku poliisi e Kitebi, Francis Kateega agamba; ensonga zino tuzituddemu naye zitusobedde.

 

Ssaalongo agamba ayagala kuzimba nnyumba ya mulembe ng’ate Nnaalongo tayagala kuva mu nnyumba.

Tugezezzaako okubatabaganya naye baganyi. Ssalongo yaleese ebbaluwa ng’agamba nti KCCA ye yagimuwadde amenyewo ennyumba ekaddiye era n’amenya emizigo esatu egyasoose ka kyokka ne tumugaana okumenya ezisigaddewo kyokka n’azimenya! Fayiro zaabwe naziweerezza ku poliisi e Katwe etutwala.

Ye Ssaalongo John Ssendi Nantinda agamba; Sirina kya maanyi kye nnyinza kwogera kubanga ensonga kkooti yazigoba, yantwalako ne mu FIDA nayo ne bamugoba ate okumenya nabadde n’ekiwandiiko kya KCCA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sheeber 220x290

Sheebah Karungi akutudde ddiiru...

OMUYIMBI Sheebah Karungi oluvudde mu ggwanga lya Amerika gy’abadde akubira abaayo omuziki atuukidde mu kukutula...

Kubaka9 220x290

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda...

Obuwanguzi bwa ttiimu ya Uganda ey'okubaka mu bifanaanyi

Illegalgears10 220x290

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja...

UPDF ekutte abavubi 17 ku nnyanja Nalubaale e Jinja Mayuge lwa nvuba mbi

Kasubibwafanana1 220x290

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro...

Katikkiro Mayiga alambudde Amasiro g'e Kasubi n'agumya Abaganda

Minisitaruhankanarugundangakwasaugandaekikopo 220x290

Uganda ekoze likodi ng'ewangula...

TTIIMU ya Uganda ey’okubaka esitukidde mu kikopo kya 2018 World University Netball Championship ezibadde ziyindira...