TOP

Abayindi bakwatiddwa n’emmotoka enzibe

By Musasi wa Bukedde

Added 26th May 2016

Omuyindi ono eyabadde mu mujoozi omumyufu n’ekipale ekimpi ekyefaanaanyirizaako eky’amagye yatuuse kyokka n'agaana okuggulira abaserikale ba poliisi okwaza ekikomera okuzuula oba emmotoka egambibwa okuba enzibe mw’eri.

Bayindi1 703x422

Omuyindi (ku ddyo) agambibwa okuba nnannyini kikomera mwe baasanze mmotoka egambibwa okuba enzibe ng’aliko by’annyonnyola abapoliisi.

Bya ROGERS KIBIRIGE

ABASERIKALE ba poliisi y'e Katwe nga bali wamu n'aba Kira Road bazinze ekikomera ky'Abayindi e Bukoto ne bakukunulayo mmotoka egambibwa okubbibwa ku mugagga w'e Makindye.

Kino kyaddiridde omugagga w'e Makindye mu Kkanisa Zooni, Andrew Julius Kimula okumala ebbanga ng'anoonya mmotoka ye ekika kya Toyota Prado UAV 791Q Chasis no. KDJ1200015474 eyamubbibwako babbulooka abatunda mmotoka z'abagagga mu Kampala okuli Magandaazi ne Mike be yagiwa okugimutundira ku bukadde 120 omwaka oguwedde.

Poliisi yazinze ekikomera kino ku Lwokusatu ssaawa nga 5:00 ez'oku makya n'ekonkona nga tebaggulawo kyokka ng'embwa enkambwe ezaabadde munda ziboggola era nga zibula kubuuka kikomera kuluma baserikale.

Omukozi w'awaka yakubidde mukama we essimu n'ayogera n'omu ku baserikale ba poliisi n'abategeeza nga bwe yabadde e Luweero-Kasana era n'abategeeza nga bwe yabadde agenda okubatuukako mu ddakiika nga 45 zokka.

 oliisi ngetwala mmotoka egambibwa okuba enzibe okuva mu kikomera kybayindi e ukoto Poliisi ng’etwala mmotoka egambibwa okuba enzibe okuva mu kikomera ky’Abayindi e Bukoto.

 

Omuyindi ono eyabadde mu mujoozi omumyufu n’ekipale ekimpi ekyefaanaanyirizaako eky’amagye yatuuse kyokka n'agaana okuggulira abaserikale ba poliisi okwaza ekikomera okuzuula oba emmotoka egambibwa okuba enzibe mw’eri.

Yasabye poliisi okumuwa obudde okutuusa ab'oluganda lwe bwe bazze n'ebiwandiiko by'agamba nti kwe yagulira mmotoka eno ne bagifulumya n'etwalibwa ku poliisi ya Kira Road.

Omugagga Kimula agamba nti oluvannyuma lwa babbulooka Magandaazi ne Mike okubawa mmotoka ye eno okugimutundira nga November 19, 2015 ku Garden City mu Kampala.

Agamba yakanda kubasaba ssente kyokka nga bamutegeeza ng’Omuyindi gwe baaguza mmotoka bw'atannabasasula kyokka nga bw’abasaba mmotoka ye, tebagimuwa.

Kimula yagasseeko nti yagenda ku poliisi y'e Katwe n'abaggulako omusango gw'okumubbako mmotoka ye oguli ku fayiro nnamba SD 03/26/03/2016 eyakutte omu ku babbulooka okuli amanyiddwaako erya Mike ne Kamya n'ebaggalira kyokka oluvannyuma ne bateebwa ku kakalu ka poliisi okuyamba poliisi ne Kimula okuzuula mmotoka ye.

Yayongeddeko nti yeewuunya obufere obwakolebwa, mmotoka ye gye yagula ku Robert Kamugisha gye yakyusibwamu amannya n'ezzibwa mu g'Omuyindi Hussein Karmali n'oluvannyuma n'ezzibwa mu g'Omuyindi omulala Zahid Shamsherali Tejan nga ye eyagigula tagikyusangako.

Oluvannyuma mmotoka eno yaggyiddwa ku poliisi ya Kira Road n'etwalibwa ku poliisi y'e Katwe awaaloopebwa omusango n'Abayindi ne batwalibwa ku poliisi e Katwe.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Deb2 220x290

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero...

Aba UPDF bateereddwa ku ssomero eryayidde e Rakai

Leb2 220x290

Emmotoka mwe ntambulira etuuse...

Emmotoka mwe ntambulira etuuse okunsuza ku kkuno-Bp. Ssebaggala

Pop1 220x290

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa...

Aba Poliisi ababadde bavunaanibwa okutta Kirumira bateereddwa

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala