TOP

Abatakisi balumbye ababba ssente zaabwe

By Musasi wa Bukedde

Added 26th May 2016

Abatakisi balumbye ababba ssente zaabwe

Po1 703x422

Kasinga ng’ali ne baddreeva.

BADDEREEVA ba takisi ku siteegi y’e Bwaise baloopedde akulira poliisi y’e Kawempe, Hashim Kasinga, abakulembeze baabwe ababulankanya ssente zaabwe ez’okwekulaakulanya ne kireetawo okugugulana ku siteegi yaabwe.

Baddereeva bayiye akakiiko k’abakulembeze akabaddeko ne balonda akapya akagenda okulondoola enzirukanya y’emirimu naddala enkozesa ya ssente. Ronald Kayanja eyalondeddwa ku buwandiisi bwa siteegi yategeezezza nti siteegi yali eyingiddemu obutabanguko nga buva ku ssente z’okwekulaakulanya ng’enkola eriwo buli lunaku waliwo ddereeva afuna 200,000/-. Kayanja yagamba nti ssente endala 3,450,000/- ezibadde ziggye baddereeva mu mbeera olw’obutaba ku akawunta zibadde zikuηηaanyizibwa okuva mu mmotoka ya takisi eyagulibwa bammemba emyezi munaana egiyise.

Yagambnye nti baddereeva balumiriza omuwanika abaddeko, Fauzi Wakwa okuba ng’amanyi amayittire ga ssente zino era bw’anaalemwa okuzibawa ensonga bajja kuzitwala mu kkooti. Baddereeva baalonze akakiiko akapya akagenda okubakulembera ng’okulonda kwabadde ku kisaawe kya Growers e Bwaise.

Abaalondeddwa ye Ssentebe Francis Nsobya Ssemakadde eyazze mu kifo ky’abaddemu. Muhammad Kinene ye mumyuka, Ronald Kayanja, muwandiisi, David Mayanja, muwanika. Abalala abaalondeddwa ye; Fred Lukumbi avunaanyizibwa ku nsonga za baddereeva, Eric Ssekaayi wa byakwerinda, Abdu Jjuuko akulira bakondakita ne Ismail Bisaso ye muwi w’amagezi ku lukiiko luno.

Ssentebe Nsobya yeebazizza ba ddereeva banne okuddaamu nebamussaamu obwesige ne yeeyama okutuukiriza obuvunaanyizibwa obumukwasiddwa. Lukumbi yasabye baddereeva okufuna pamiti kibayambe okukola omulimu gwabwe obulungi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Isco 220x290

Isco agenda ku 'kiso'

Abakungu ba Real Madrid baategeezezza nti abasawo beekebezze Isco, ne basanga ng'alina okulongoosebwa mu bwangu...

Mic3webuse1 220x290

Bayiiyizza sigiri eneetaasa obutonde...

Obutonde bw'ensi busaanyiziddwaawo abantu mu kwokya amanda, okutema enku n'ebirala ng'obwetaavu bw'okuyiiya ebintu...

Butwa2 220x290

Babateze obutwa mu busera, omu...

EKIKANGABWA kigudde ku kyalo Katuulo mu ggombolola y'e Kyazanga mu disitulikiti y'e Lwengo omuntu atanamanyika...

Nakiwala 220x290

Nakiwala avuddeyo ku mwana omubaka...

Minisita Nakiwala Kiyingi waakukaka omubaka Onyango okulabirira omwana gwe yasuulawo.

Kambale1 220x290

KCCA etandika ne Soana, Villa ne...

Okusinziira ku nsengeka ya liigi eno eyafulumiziddwa Bernard Bainamani agikulira eggulo, bakyamipiyoni ba sizoni...