TOP

Ekyabadde ku kkooti mu musango gw’abatujju

By Alice Namutebi

Added 27th May 2016

Enguudo zonna eziyita okumpi ne kkooti enkulu zonna zaabadde ziggaddwa ng’ebimotoka bya Poliisi ne mmamba ez’amagye zikiikiddwa mu makubo tewali wadde bodaboda ekkirizibwa kusalinkiriza.

Tujju1 703x422

Aba Military Police nga balawuna mu kibuga, mu kiseera Omulamuzi Alphonse Owiny Dollo we Isa Luyima, eyaluka olukwe yaweeredde ensala ye eggulo.

Bya Alice Namutebi

OMULAMUZI Alphonse Owiny Dollo, bwe yabadde tannawa nsala ye mu musango ogw’obutujju obwakolebwa nga July 11, 2010 omwafiira abantu 76, kkooti enkulu yasoose kwebungululwa bakomando ab’ekibinja ekirwanyisa obutujju okuva mu Poliisi n’amagye.

Olwo enguudo zonna eziyita okumpi ne kkooti enkulu zonna zaabadde ziggaddwa ng’ebimotoka bya Poliisi ne mmamba ez’amagye zikiikiddwa mu makubo tewali wadde bodaboda ekkirizibwa kusalinkiriza.

 

Embeera eno yatandise ku ssaawa nga 12:00 ez’oku makya g’Olwokuna nga n’abasibe tebannatuusibwa ku kkooti.

Obunkenke bweyongedde ku ssaawa 1:25, abasibe 13 bwe baatuusiddwa mu bugombe nga bali mu bbaasi ey’amakomera nga bawerekerwa kabangali za Poliisi ttaano nga zibembereddeko abaserikale abaabadde babagalidde emmundu nga bonna batunuza bukambwe bwokka.

 

Mmotoka ey’ekitongole ezikiriza omuliro nayo yatuuse n’esimba okumpi n’omulyango omunene ogwa kkooti enkulu. Abasibe olwatuusiddwa munda mu kibangirizi ekya kkooti enkulu, obunkenke ne bweyongera munda n’ebweru era bannamawulire abaasangiddwa nga tebannayingira tebakkiriziddwa munda.

Essaawa zaabadde nga 4:25, omulamuzi Dollo n’ayingira munda mu kkooti n’alagira abasibe bayingizibwe era baggyiddwa mu kaduukulu ka kkooti gye baasoose okukuumirwa ne bayingizibwa mu kkooti eyabade ekubyeko ng’abantu abamu bayimiridde mu madirisa.

 sa uyima eyaluka olukwe yaweeredde ensala ye eggulo lwonna olwokutega bbomu Isa Luyima, eyaluka olukwe yaweeredde ensala ye eggulo. lwonna olw’okutega bbomu.

 

Omulamuzi Dollo yasoose kuwumbawumba musango gye gwatandikira omwabadde n’okwogera ku kuttibwa kw’eyali omuwaabi omukulu ow’omusango ogwo, Joan Kagezi, eyatemulwa nga March 30, 2015, omusango ne guyimirira okumala ennaku 70. Wabula omulamuzi Dollo yagambye nti okutemulwa kwa Kagezi tekulina ngeri yonna gye kwekuusa ku nsala ye.

Dollo era yasomedde kkooti ebyafaayo by’omusango guno ssaako n’okutegeeza buli omu ku basibe 13 abavunaanibwa, omusango ogumuvunaanibwa. Kino kyatutte essaawa nga nnya nnamba okuva ku ssaawa 4:25, okutuuka ku ssaawa nga zigenda mu 8:00 ez’emisana lwe yalagidde Issa Luyima okulinnya mu kaguli.

 

Omulamuzi Dollo yagambye nti Isa Ahmed Luyima ye yali omutwe omukulu, era eyaluka olukwe lwonna olw’okutega bbomu e Lugogo. Sitetimenti Luyima ze yakola ku poliisi ne ku kkooti e Nakawa ze zaamusingisizza omusango era omulamuzi Dollo yagambye nti talina kubuusabuuza kwonna, Luyima ye yaluka olukwe lw’okutta abantu abatalina musango.

Luyima yayingira eby’obutujju mu 2009 e Somalia n’atandika okutendekebwa mu bintu ebyenjawulo. Oluvannyuma lw’okukenkuka mu butujju, yaweebwa omulimu gw’okukulira obulumbaganyi ku Uganda era n’akomawo mu ggwanga mu May 2010.

 

Obujulizi bulaga nti yapangisa ennyumba e Namasuba nga muno mwe yakuumira ne balumiramwoyo banne abeetulisizaako bbomu e Lugogo ne Kabalagala abaamuweerezebwa okuva e Somalia.

Luyima olukwe yaluyingizaamu ne muganda we Hassan Luyima n’atandika okunoonya ebifo mwe bayinza okutuukiriza ekigendererwa kyabwe era enkeera bbomu lwe zitta abantu n’alinnya bbaasi n’agenda e Kenya ng’atidde okumukwata.

Ku lunaku bbomu lwe zitta abantu, Luyima yaweereza muganda we Hassan Luyima ssente, aggye ebintu bye mu nnyumba e Namasuba kyokka ye n’akwatibwa poliisi ye Kenya.

Obujulizi obulala obwasingisizza Luyima kwabaddeko obwa Idris Nsubuga eyakkiriza omusango n’asibwa emyaka 25 ne Muhamood Mugisha eyasibwa emyaka etaano. Nsubuga yategeeza kkooti nti Luyima ye yamuyingiza mu by’obutujju era n’amutwala n’e Somali atendekebwe.

HUSSEIN AGADE GUKUSINZE!

Omulamuzi Dollo yasingisizza Hussein Agade omusango ng’asinziira ku bujulizi obwaleetebwa Agade okuggyako essimu ku ssaawa y’emu ne Luyima ate nga baali boogeraganya, ne kitegeeza nti naye olukwe luno yali alumanyiiko kwe kumusingisa omusango gw’obutujju.

Agade ne Luyima baggyako amasimu gaabwe ku ssaawa y’emu ku lunaku lwennyini bbomu lwe zitta abantu, so nga kw’olwo baali baakeekubira essimu emirundi 15.

Idiris Nsubuga bwe yali awa obujulizi yagamba nti yasisinkana Agade e Somalia nga Luyima ye yamumwanjulira era mu kutendekebwa kwonna okubeera omutujju baaliyo bonna.

Luyima ne Agade beeweerezanga bubaka ku ssimu era bwe yakwatibwa e Kenya n’akkiriza nga bwe yali emabega wa bbomu ezatta abantu era n’akola sitetimenti ku poliisi ne ku kkooti ng’akkiriza emisango.

HASSAN HARUNA LUYIMA OLI MUTUJJU!

Ono muganda wa Isa Luyima era nga bwe baali nga banoonya ebifo bbomu mwe zinaatulisibwa. Haruna naye omusango gw’obutujju gwamusinze ng’omulamuzi yeesigama ku bujulizi bwa Idris Nsubuga ne sitetimenti ze yakola ng’akkiriza emisango era ng’omulamuzi yagambye nti yakolaganira wamu ne muganda we Isa Luyima okulaba ng’ekigendererwa kya bannalukalala kituukirizibwa mu Uganda.

YAHAYA SULEIMAN MBUTHIA WEJJEEREDDE:

Munakkenya era nga kkooti yamwejjeerezza omusango gw’obutujju. Omulamuzi Dollo yagambye nti yadde nga Mbuthia muganda w’abamu ku bavunaanibwa, tewali bujulizi bwonna bulaga nti yali amanyi ku lukwe lw’okukuba bbomu mu Uganda.

OMAR AWADH OMAR YEJJEEREDDE: Ono naye Munnakkenya era nga naye kkooti yamwejjeerezza. Omulamuzi Dollo yagambye nti tewali bujulizi bwonna bumulumika ku by’obutujju.

IDRI MAGONDU GUMUMEZZE Ono w’e Tanzania nga naye omusango gw’obutujju gwa- mumezze. Omulamuzi Dollo yamusingisizza omusango nga yeesigama ku sitetimenti ye, obujulizi bwa Nsubuga bwe baali e Somalia.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wano1 220x290

Aba DP e Bukomansimbi beerangidde...

BANNAKIBIINA kya DP beeraahhidde enkwe ezijjudde mu bamu ku bannakibiina kino e Bukomansimbi okuli n’abamu ku bakulembeze...

Sezi1 220x290

Agambibwa okuba omusezi bumukeddeko...

ABATUUZE okuva ku byalo mukaaga okuli; Katovu ,Katovu-Mudaala, Kalegero, Ngango, Kiteredde ne Bitookebisalire ebisangibwa...

Manya 220x290

Omuntu attiddwa mu mivuyo gya LC...

OMUNTU omu afiiridde mu nsonga ezigambibwa okuba ez’ebyobufuzi ate abalala banyiga biwundu mu zooni y’e Lweza B...

Baby 220x290

Eyanzaalamu n'annemya emisomo anneefuulidde...

NZE Judith Kyampiire 22, mbeera mu Good Hope Makerere Kavule mu Munisipaali y’e Kawempe.

Ssenga1 220x290

Maze omwaka mulamba sirwala

NNINA emyaka 27 naye maze omwaka gumu nga sirwala era sifuna lubuto. Osobola okunfunira ku ddagala ne ntandika...