TOP
  • Home
  • Amawulire
  • UPDF ewakanyizza kkooti ku bya Sejusa okuva mu magye

UPDF ewakanyizza kkooti ku bya Sejusa okuva mu magye

By Alice Namutebi

Added 30th May 2016

EGGYE lya UPDF litegeezezza nti ligenda kujulira ku nsala ya kkooti eyakkirizza Gen. David Sejusa okuva mu magye.

Seju57044691 703x422

Gen. David Sejusa

EGGYE lya UPDF litegeezezza nti ligenda kujulira ku nsala ya kkooti eyakkirizza Gen. David Sejusa okuva mu magye.

Omwogezi wa UPDF Lt. Col. Paddy Ankunda yategeezezza nti amagye gateekateeka kujulira kubanga tegakkaanya na nsala eyakoleddwa ku Lwomukaaga. “Tuli bennyamivu nnyo olw’ensala y’omusango gwa Gen. Sejusa.

Ensala yabaddemu ensobi nnyingi era tulina enteekateeka eyeeyongerayo mu kkooti ejulirwamu,” Lt. Col. Ankunda bwe yategeezezza.

Kino kiddiridde Omulamuzi Margret Oguli owa kkooti enkulu okusala omusango, Sejusa gwe yawaaba ng’awakanya okumugaana okuwummula amagye so nga tebamuwa musaala n’ebintu ebigenderako, talina mulimu gwe bamutuma era baamuggyako emmundu n’ebyambalo.

Omulamuzi Oguli yasazeewo nti Gen. Sejusa takyali mu UPDF era amagye galina okumuwa ebbaluwa ekakasa nti yagannyuka.

Ku nsala eno, Omulamuzi Oguli kwe yagasse n’okulagira gavumenti okuliyirira Sejusa obukadde 750 olw’okumuswaza n’okumuyisaamu amaaso bwe baamukwata ne bamusindika mu kkomera e Luzira.

Gavumenti era yalagiddwa okusasula Sejusa omusaala gwe gwonna gw’abadde tafuna okumala omwaka mulamba n’omusobyo n’akasiimo nga bamuteereddemu amagoba ga bitundu 20 ku 100.

Looya wa Sejusa, David Mushabe yagambye nti ensala y’omulamuzi Oguli esazizzaamu n’emisango gyonna egyamuggulwako kubanga abadde avunaanibwa ng’omujaasi ate nga kati kkooti esazeewo nti takyali.

Guno gubadde mulundi gwakubiri nga Sejusa asaba okunnyuka obujaasi. Omulundi ogwasooka mu 1996, Sejusa yagezaako okusaba okuwummula obujaasi kyokka n’agaanibwa.

Yaddamu okuwaayo okusaba kwe nga December 30, 2014 kyokka ne batamuddamu ekyamuwaliriza okugenda mu kkooti.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...