TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Beefudde abagula ettaka ne batta nnannyini lyo e Kitende

Beefudde abagula ettaka ne batta nnannyini lyo e Kitende

By Patrick Tumwesigye

Added 30th May 2016

ABATEMU bayise ssemaka mu maka ge e Kitende okumpi ne Kajjansi ku lw’e Ntebe nga beefudde nga abaagala okugula poloti eri okumpi n’amaka ga kitaawe e Kitovu mu ggombolola y’e Ssisa.

Kubba 703x422

Mulekwa Nanziri. Ku ddyo, Omugenzi Kinene ne muganda we Kikonyogo (ku ddyo) eyakwatiddwa. Wano baali ku kabaga k’okutikkira Nanziri, muwala wa Kinene

ABATEMU bayise ssemaka mu maka ge e Kitende okumpi ne Kajjansi ku lw’e Ntebe nga beefudde nga abaagala okugula poloti eri okumpi n’amaka ga kitaawe e Kitovu mu ggombolola y’e Ssisa.

Ekiddiridde, aba famire ye kubadde kumusanga nga bamutemyetemye embazzi ku mutwe n’oluvannyuma n’afa.

Esao Kinene, omutuuze w’e Kitende Zooni A ye yattiddwa mu bukambwe. Baamukubidde essimu ku ssaawa 7:00 ez’emisana ku Lwokutaano ne balagaana okusisinkana ku ssaawa 12:00 akawungeezi bateese ku bya poloti eri okumpi n’amaka ga kitaawe Erifazi Mutyaba e Kitovu.

BAKUTTE ABOOLUGANDA 2

Ettemu lino likwasizza Dennis Kikonyogo, muganda w’omugenzi ne Jovan Magala (omwana wa muganda we) basobole okuyamba ku poliisi okunoonyereza.

Bamulekwa b’omugenzi obwedda bakaaba kimu nti, “obusirise bwa taata bwe bumussizza,” olwo nga basinziira ku kusika omuguwa okubaddewo wakati wa kitaabwe ne muganda we Kikonyogo gwe balumiriza nti abadde yaggula ku kitaabwe olutalo ng’alowooza agenda kumutwalako obusika.

Dorothy Justine Nanziri, omu ku bamulekwa yategeezezza nti, “ku Lwokutaano ku ssaawa 7:00 abantu abeeyise babbulooka baakubidde taata essimu era bwe zaaweze 11:30 n’asimbula pikipiki okugenda e Kitovu.

Bwe bwawungedde nga takomawo ne tumunoonya okutuusa lwe twamuzudde e Kitovu ku poloti ku ssaawa 7:00 ez’ekiro.

Twamututte mu ddwaaliro e Kisubi n’afa nga twakatuukayo.” Omugenzi alese abaana musanvu ne nnamwandu.

Abaakwatiddwa bagguddwaako omusango ku fayiro nnamba SD7/28/5/2016.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda