TOP

Bamwokeredde mu nju ne famire

By Musasi wa Bukedde

Added 31st May 2016

Omuntu ow’ettima alumbye famire ya bantu 10 n’amansira amafuta mu nju mwe baabadde n’agikoleezaako omuliro omwana omu n’afa ng’atwalibwa mu ddwaaliro.

Bana1 703x422

Ssevume mu bulumi.

Omuntu ow’ettima alumbye famire ya bantu 10 n’amansira amafuta mu nju mwe baabadde n’agikoleezaako omuliro omwana omu n’afa ng’atwalibwa mu ddwaaliro.

Abaabadde munda baasobodde okufuluma kyokka nga bajjudde ebisago ebyatuusizza n’omuto okufiira mu kkubo.

Ekikolwa ky’ettemu kino kyabaddewo mu kiro ekyakeesezza Ssande, ku kyalo Namiringa mu ggombolola y’e Kassanda, mu disitulikiti ye Mubende.

Famire ya William Ssevume ye yalumbiddwa abazigu mu matumbibudde nga beebase. Ssevume yagambye nti, babadde beebase n’awulira omuntu ku luggi era ekyaddiridde kwe kuwulira omuliro nga gubwatuka, olwo ne gukwata enju yonna.

Ssevume yagambye nti baabaddemu abantu 12 mu nju nga gwalumizzaako abantu bana. “Nakubye enduulu nga bwe ntaasa abaana okutuusa abatuuze we ba nziruukiridde,” bwatyo bwe yagambye.

Abaalumiziddwa kuliko Ssevume yennyini, mukyala we, Justine Namuyiga, n’abaana baabwe okuli Jackline Mbatudde ne Jesca Nambalirwa.

Baasoose kutwalibwa mu ddwaaliro e Mityana, abasawo ne babongerayo e Mulago kyokka Nambalirwa n’afiira mu kkubo nga tebannatuuka. Kigambibwa nti Ssevume abadde n’omuntu gwe batakwatagana bulungi naye nga poliisi egenda kubuuliriza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ziika1 220x290

Ssaalongo yalese eddaame ekkabwe!...

SSAALONGO Erisa Ssendaaza Semuwubya olwafudde, mikwano gye gy’abadde yateresa eddaame lye ne baliggyayo ne balisomera...

Maaso 220x290

Abadde yaakayimbulwa bamuttidde...

OMU ku bamenyi b’amateeka aboolulango mu Kawempe abadde yakaligibwa emyaka esatu mu kkomera e Luzira oluyimbuddwa...

Laha 220x290

Baze ambuzeeko kati wiiki bbiri...

OMWAMI wange yambulako kati wiiki bbiri nga simulabako kyokka yandekera omwana omuto nga ne ssente sirina.

Ssenga1 220x290

Omukazi alabika yandoga obusajja...

OMUKAZI bw’aba nga yanzita obusajja, nsobola okufuna eddagala? Sirina manyi ga kisajja bulungi ate nga gaali mangi...

Pansa 220x290

Stecia Mayanja ddala muzito oba...

HAJATI Faridah Mubiru manya Stecia Mayanja owa Kream Production ennaku zino alina engeri gy’agezze ate nga ne Sharia...