TOP
  • Home
  • Agookya
  • Looya eyabba Nnabakyala wa Toro ssente obuwumbi 3 kkooti ezimusesemezza

Looya eyabba Nnabakyala wa Toro ssente obuwumbi 3 kkooti ezimusesemezza

By Alice Namutebi

Added 31st May 2016

KKOOTI eragidde looya Bob Kasango okusesema ssente obuwumbi 3 n’obukadde 400 mu mwezi gumu nga zino yazibba ku nnabakyala we Toro, Best Kemigisha.

Best2 703x422

KKOOTI eragidde looya Bob Kasango okusesema ssente obuwumbi 3 n’obukadde 400 mu mwezi gumu nga zino yazibba ku nnabakyala we Toro, Best Kemigisha.

Kasango era eragiddwa okuliyirira Kemigisha ssente endala obukadde 12 oba okusibibwa mu kkomera e Luzira emyaka 4.

Kasango okufuna ssente zino kyaddirira Kemigisha okuguza  gavumenti yiika z’ettaka 11 nga ssente zaalina kukwasibwa Kasango eyali looya we n’oluvannyuma aziwe  Kemigisha  kyokka Kasango ssente zonna n'azezza.

Kasango yasooka n'awangula omusango gw’okubba n’okukingirira ebiwandiiko mu kkooti ya Buganda Road wabula Ssabawaabi wa gavumenti n'ajulira mu kkooti enkulu obujulizi gye bwazzeemu okwekenneenyezebwa  ng'omusango gwamusinga era n'alagirwa okuzzaayo ssente.

Omulamuzi Jamson Kalemaani awadde ebiragiro nti singa Kasango tasasula ssente mu bbanga ly’omwezi ogumu ly'amuwedde,  bagende mu kkooti emanyiddwa nga 'execution' ebintu bye biboyebwe era bitundibwe okusobola okuggyamu ssente.

Kemigisha agambye nti si mumativu n'ensala ya kkooti kubanga abadde asuubira okuwa Kasango ekibonerezo ekyamaanyi kubanga amuyisizza mu bulumi bungi nnyo omuli n’okumwonoonera erinnya.

Ye omwogezi w’ekitongole ekiramuzi, Jane Kajuga agambye nti bagenda kwetegereza ensala ya kkooti olwo we bajja okusalawo oba bajulira mu kkooti eddako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...