TOP

‘Nakungu yaggyamu olubuto lwa Kasiwukira’

By Alice Namutebi

Added 1st June 2016

Mbega wa poliisi SP Prossy Namukasa akolera ku kitebe kya bambega e Kibuli mu ofiisi enoonyereza ku bukenuzi n’obuli bw’enguzi ye yaggya sitaatimenti ku Sandra Nakungu ng’omulimu gwe gwabadde gwakunnyonnyola kkooti Nakungu bye yambuulira nga yakakwatibwa omwabadde n’ensonga y’okumufunyisa olubuto

Nakkungu1 703x422

Eron Mpoza (omusika wa Kasiwukira ng’ayogera ne nnyina Sarah Nabikolo

Bya ALICE NAMUTEBI

OLUDDA oluwaabi mu musango gw’okutta Eria Ssebunya Bugembe eyali amanyiddwa nga Kasiwukira luleese omujulizi owa 21, n’ategeeza kkooti nti, Kasiwukira yali muganzi wa mulamu we Sandra Nakungu era yamufunyisaako olubuto ne baluggyamu.

Ono yeegasse ku bajulizi abalala abazze balumiriza nnamwandu Sarah Nabikolo, muganda we Sandra Nakungu n’owa poliisi Jaden Ashiraf nti be batta omugenzi.

Mbega wa poliisi SP Prossy Namukasa akolera ku kitebe kya bambega e Kibuli mu ofiisi enoonyereza ku bukenuzi n’obuli bw’enguzi ye yaggya sitaatimenti ku Sandra Nakungu ng’omulimu gwe gwabadde gwakunnyonnyola kkooti Nakungu bye yambuulira nga yakakwatibwa omwabadde n’ensonga y’okumufunyisa olubuto era byatambudde bwe biti.

 mugenzi asiwukira bweyali ku mbaga ye ne abikolo Omugenzi Kasiwukira bweyali ku mbaga ye ne Nabikolo

 

Gavumenti: Kiki ky’oyinza okubuulira kkooti ku musango guno;

Namukasa: Nga November 25, 2014 amyuka akulira bambega ba poliisi mu ggwanga, Geoffrey Musana yampita n’ampa obuvunaanyizibwa bw’okuggya sitaatimenti ku omu ku bavunaanibwa mu musango ogw’okutta Kasiwukira era n’ansindika mu ofiisi ekola ku misango gy’obutemu okukwatagana neyali agikulira mu budde obwo SP Mark Odong ng’eno gyenasanga Sandra Nakungu avunaanibwa kati .

Gavumenti: Ebyo nga biwedde kiki ekyaddako?

Namukasa: Nakungu bwe baamuleeta mu ofiisi yange namweyanjulira naye ne yeeyanjula ne mmusomera omusango ogwali gumugguddwaako ogw’okutta Kasiwukira ne mubuuza oba agutegedde n’akkiriza era ffembi ne tuteeka omukono ku kukiwandiiko okukakasa nti ategedde omusango.

Gavumenti: Ebyo ng’obimaze waddako ki?

Namukasa: Nagamba Nakungu okukola sitaatimenti era yangamba nti waakugikola mu Luganda kuba teyagenda wala mu byokusoma kwe kutandika okwogera nga bwe mpandiika.

Gavumenti: Ye Nakungu yali mu mbeera ki era kiki kye yakugamba mu sitaatimenti ye?

Namukasa: Okutwaliza awamu teyali mu mbeera mbi kuba yali mukkakkamu nga taliiko lubale yadde ekinubule kyonna. Nakungu yangamba nti wa myaka 34 era yakolerako Kasiwukira mu wooteeri ye emanyiddwa nga SEB Hotel e Muyenga ng’alongoosa. Mu sitetimenti Nakungu yagamba nti Kasiwukira yamufunyisaako olubuto kyokka bwe yabuulirako kizibwe we era mukyala wa Kasiwukira Sarah Nabikolo n’amuwa amagezi aluggyemu kye yakola. Mbu Nabikolo yalumba bba Kasiwukira n’abimutegeeza kyokka Kasiwukira n’amutabukira (Nakungu) n’amugoba ku mulimu awaka kwe kusalawo okuddukira ewa muganda we omulala Marble Nabikolo.

Nti Nakungu yalina paakingi e Nsambya gye yatandika okukoleramu naye nga tevaamu ssente kwe kusalawo okwenyigira mu kusuubula amata ng’akwataganye n’Abayindi mu Industrial Area kyokka emmotoka mwe yali atambuliza amata n’efuna akabenje e Kammengo n’etwalibwa ku poliisi. Kuno yagattako nti yalina emmotoka kika kya Nadia UAU 120K gye yatunda ku bukadde 15 n’ayongera mu bizinensi y’amata n’agulako n’emmotoka endala Pajero nnamba UAE 018A nayo n’agitunda nga October 16 2014 ku bukadde 4.

Namukasa yagambye nti, Nakungu yamutegeeza nti Jaden (bwe bavunaanibwa) yali muganzi we era baali batera okukyakala bombi wabula yamusuulawo ng’alaba talina gyamutwala era Jaden ye yamukubira essimu ng’amuyita poliisi okumukwata.

Nti Nakungu mu sitaatimenti ye, yeegaana okuba mu lukwe lw’okutta Kasiwukira era n’agamba nti obutakwatagana bwe ne Kasiwukira ssaako n’emmotoka Pajero kwe basinziira okugamba nti yali mu lukwe lw’okutta. Omusango guddaamu okuwulira leero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima