TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omukulembeze wa S. Korea alina bakomando abakazi ab’omutawaana

Omukulembeze wa S. Korea alina bakomando abakazi ab’omutawaana

By Musasi wa Bukedde

Added 1st June 2016

Amagye gaabadde galawuna buli kasonda n’oluvannyuma oluguudo ne luggalwa. Abadde ku bugenyi mu mawanga agawerako mu Afrika okuli: Ethiopia, Kenya ne Uganda gye yateeredde emikono ku ndagaano ez’enjawulo.

Korea1 703x422

Minisita Sam Kuteesa ng’ayaniriza Park Geun-hye ku kisaawe e Ntebe .

SOUTH KOREA

EBYOKWERINDA byabadde gulugulu ku kisaawe e Ntebe. Nnamunkanga z’amagye ne zeebonga mu bbanga ng’eno abantu bwe bakuba obuluulu n’abamu nga bali mu kutya.

Olwo ennyonyi ya Pulezidenti wa South Korea, Park Geun-hye yabadde etonnya mu ggwanga.

Amagye ne poliisi beekutte ebifo okumuwa obukuumi kyokka n’omukyala ono yazze n’abakuumi ababe abawera. Kigambibwa nti yawerekeddwaako n’ennyonyi endala okumuwa obukuumi mu bwengula.

 mu ku bakuumi ba ark eunhye ngagezesa engeri yokulwanyisaamu ssinga wabaawo obulumbaganyi Omu ku bakuumi ba Park Geun-hye ng’agezesa engeri y’okulwanyisaamu ssinga wabaawo obulumbaganyi.

 

Amagye gaabadde galawuna buli kasonda n’oluvannyuma oluguudo ne luggalwa. Abadde ku bugenyi mu mawanga agawerako mu Afrika okuli: Ethiopia, Kenya ne Uganda gye yateeredde emikono ku ndagaano ez’enjawulo.

Okukyala kwe kwesigamiziddwa nnyo ku byenfuna, obusuubuzi, ebyenjigiriza, tekinologiya, ebyokwerinda, ebyobulimi era wano we yasinzidde okugenda e Kampiringisa mu Mpigi okutongoza ettendekero ly’ebyobulimi erya ‘National Farmers Leadership Centre’.

 bajaasi nga balinda ulezidenti ark eun  hye e tebe aggulu yennyonyi ye Abajaasi nga balinda Pulezidenti Park Geun - hye e Ntebe. Waggulu y’ennyonyi ye.

 

EBIKWATA KU PARK:

 Yalina emyaka 9 kitaawe Park Chung-Hee we yawambira obuyinza mu 1961 n’afuga Korea emyaka 19. Nnyina baamukuba amasasi mu 1974 bwe baali baagala okutta kitaawe. Yasigalawo ng’akola emirimu nnyina gye yali akola.

 Omukululo kitaawe gwe yaleka gwamuyamba okuwangula Obwapulezidenti. Yategeeza nti alina okulwanirira eddembe ly’abakyala n’okumalawo obwannaakyemalira.

Emikutu gy’amawulire nga Korean Central News Agency gyategeeza nti obwannaakyemalira bwa kitaawe tebuyinza kumuggwaamu.

 nnyonyi yekika kya  50 ultirole eyomutawaana ezimu ku zikuuma ulezidenti ark eun hye Ennyonyi y’ekika kya FA -50 Multirole ey’omutawaana ezimu ku zikuuma Pulezidenti Park Geun -hye.

 

 Omukazi yinginiya ng’alina diguli okuva mu Sogang University e Seoul era mukyala mukkakkamu. Yeeyogerako nti yeegombanga nnyo Margaret Thatcher owa Bungereza ne Cansala wa Germany, Angela Merkel. Park ye Pulezidenti omukyala eyasooka mu ggwanga lino.

 Tafumbirwangako era talina mwana. Kino kyasikiriza abakyali mu myaka okumuwa akalulu nga bagamba nti baali bakooye abakulembeze abeekomya ensimbi z’eggwanga nga balabirira abaana baabwe. Ono yakulira mu maka ga Pulezidenti ng’ali ne kitaawe ate n’addayo ng’afuuse Pulezidenti.

l Olwawangula akalulu mu 2012 n’alabula baliraanwa be aba North Korea bakomye okubeemoolerako. Yategeeza nti oba mmundu kuvuga ejja kuvuga naye nga tajja kugumiikiriza jjoogo.

 zimu ku mmeeri amagye ge outh orea ge zikozesa Ezimu ku mmeeri amagye g’e South Korea ge zikozesa.

 

Park nga yeesigama ku byasalibwawo akakiiko k’ekibiina ky’Amawanga Amagatte (UN) akatwala ebyokwerinda, yasazaamu enkolagana ye ne North Korea naddala mu byobusuubuzi.

Aba North Korea baaleeta ekiteeso batuule ku mmeeza bateese n’akigaana ng’abawa akakwakkulizo basooke kukomya kuweesa byakulwanyisa nnamuzisa ebya ‘nuclear’ kye baagaana naye n’aguguba.

Yagambye nti okuteesa ne North Korea ku nteekateeka z’ebyokwerinda bibeera bya bwewussa kubanga tewaliwo pulaani kukomya kuweesa byakulwanyisa nnamuzisa.

ABAMUKUUMA:

l Akuumibwa bakazi abambala ebyambalo by’abasajja. Lwe yagenda mu China mu June 2013 omukyala eyakulira abakuumi be yali ku ddaala lya Col. Yalonda bakuumi bakazi ng’agamba nti abasajja ab’ekiwago batiisa abawagizi be abaamuwa akalulu nga bayinza okubalemesa okutuuka w’ali okumusikako mu mukono.

l Bwe yali alayira ku Bwapulezidenti, abaserikale baasimba ennyiriri okumwetooloola nga waliwo mmita 6 okutuuka w’ali wakati okuva ku buli ludda.

l Emmotoka gye yajjiramu nga teyitamu masasi, endabirwamu erina omubiri ogwenkana centimeter 12. Emipiira gyayo ogw’oku ngulu bwe gwabika munda waliyo omulala era esigala etambula ng’eterina kigituseeko. Yakolebwa bayinginiya ba Korea era ye mukulembeze wa Korea eyasooka okutambulira mu limoziini ekoleddwa bannansi be.

 

AMERIKA EWAGA PARK:

l North Korea olwagezesa ebyokulwanyisa bya Nuclear, Amerika n’eggyayo omutwe n’ekwatagana ne munywanyi waayo Park n’esitula emmeeri US Navy’s nuclear-powered submarine USS North Carolina eziriko ebyokulwanyisa n’ebisimba mu South Korea.

l Park takoma ku kukolagana ne Amerika yokka wabula ne muliraanwa we Japan amuyambako okunyweza ebyokwerinda.

Kino kiwa Park enkizo okubeera ow’amaanyi mu kitundu. Embeera eyo emuwa enkizo okunyweza ebyokwerinda buli walaga.

EGGYE N’EBYOKWERINDA BYA SOUTH KOREA, 2016:

l Amagye agalumbirawo bali abajaasi 625,000, eggye ezzibizi lirimu abajaasi 2,900,000 kyokka ng’abantu abalina ebisaanyizo okuyingira amagye bali 21,035,000.

Ttanka ennwaanyi 2,381, Mmamba 2,660, emmundu ezikuba ebikompola 1,990 n’ezikasuka ebikompola 214.

l Alina ennyonyi ennwaanyi 1,451. Zino kuliko ezikuba n’ezibaka ebikompola 406, Ennwaanyi 448, ezitambuza ebyokulwanyisa 348, ezitendekerwamu abalwanyi 256, nnamunkanga 679 nga kuliko ennwaanyi ezirumba 77.

Balinayo ebyokulwanyisa bye bakisa ebitajja mu lujjudde.

l Ebyokulwanyisa by’oku mazzi emmeeri ziri 166, eyeetikka ennyonyi balina emu, ennwaanyi 12, eziri ku nsalo zikaabulindiridde 80, ezisobola okunnyulula ebyokulwanyisa mu mazzi 10 ne Submarines 15 n’ebirala.

Balina ebisaawe by’ennyonyi 111.

Basima amafuta ga ggalani 500 buli lunaku.

PULEZIDENTI WA TURKEY NAYE AZZE LEERO

Pulezidenti wa Turkey Recep Tayyip Erdo anaasisinkana Pulezidenti Museveni ku bugenyi bw’azzeeko omulundi ogusoose mu Uganda.

Erdoğnaye ajja mu Uganda okunyweza enkolagana wakati w’amawanga gombi mu busuubuzi n’ebyokwerinda. Bayinvesita okuva e Turkey basuubirwa okumuwerekerako ng’asisinkana Museveni.

Erdoğekisanja yakikwata mu 2014, wa myaka 62 ng’era ye Pulezidenti wa Turkey owa 12. Yasooka kubeera Katikkiro wa Turkey mu 2003 -2014.

Yaliko meeya w’ekibuga Stanbul 1994 – 1998. Omwaka guno Turkish National Police Special Operations Forces egenda kujja mu Uganda okwongera okubangula abaserikale ba poliisi ate mu November UPDF egendeyo okutendekebwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dham 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...

Nucafe 220x290

Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde...

KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi...