TOP

Ebyuma ebiwambibwa mu bbaala bibatabudde

By Musasi wa Bukedde

Added 5th June 2016

Ebyuma ebiwambibwa mu bbaala bibatabudde

Ba1 703x422

Sempijja (mu kkooti) ng’avudde mu mbeera. Ayimiridde mu ssaati enjeru ye Matovu.

BANNANNYINI bbaala e Makindye n’abategesi b’ebivvulu batabukidde mu lukiiko ne baagala okugwa mu bulago omukungu w’ekibiina ekirwanyisa okwokya mu nnyimba z’abayimbi (UPRS) nga bamulumiriza okubatulugunya.

Byabaddewo wiiki ewedde mu lukiiko olwayitiddwa abakulira abategesi b’ebivvulu mu Comrade’s Bar e Makindye.

Baabadde baagala kutaagula Dick Matovu nga kyaddiridde okumuwa akazindaalo asooke abannyonnyole ekimuwambisa ebintu byabwe, wabula yabadde akyabannyonnyola ku tteeka ly’okwokya mu nnyimba nga bwe likwata ne ku bannannyini bifo ebisanyukirwamu, ne bamutabukira nga bagamba nti bye yabadde abannyonnyola byabadde tebibakwatako.

Tonny Ssempijja, omukwanaganya w’abategesi b’ebivvulu n’abayimbi yasabye Matovu annyonnyole olukiiko lwaki UPRS esindika abaserikale ne bawamba ebyuma bye basanga nga bikuba ennyimba z’abayimbi.

Bannannyini bifo baagambye nti aba UPRS bwe bawamba ebyuma byabwe ate okubibaddiza babasaba ensimbi nnyingi. Wabula Matovu yakalambidde n’abagamba nti tebasaanye kuwubisibwa muntu yenna ku tteeka ly’abookya mu nnyimba nti kye balina okukola kuligondera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano

Babiryecuttt 220x290

Tunoonya abasajja ateemotyamotya...

Twagala abasajja abamalirivu nga tebeemotyamotya batuwase. Tetwagala bayaaye.

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...