TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • MunnaDP Nakiwala azina gunteese: Bamuwadde bwaminisita w'abavubuka

MunnaDP Nakiwala azina gunteese: Bamuwadde bwaminisita w'abavubuka

By Ahmed Mukiibi

Added 7th June 2016

Eyali Minisita e Mmengo, Florence Nakiwala Kiyingi, ono nga yavuganyizza ku kifo ky’omubaka omukazi owa Kampala ku tikiti ya DP, naye Pulezidenti Museveni amuwadde ekifo n’akakasa oluvuuvuumo olubaddewo mu Bannakampala okumala akaseera.

Aaaaaabig70342216 703x422

Florence Nakiwala Kiyingi eyalidde obwaminisita w'abavubuka n'abaana

BETI KAMYA, NAKIWALA, NADDULI BAZINA GUNTEESE

Mu ngeri eyeewunyisizza Bannayuganda, Pulezidenti alonze abantu ababadde batasuubirwa ku bwaminisita omuli n’ab’oludda oluvuganya.

Mu balondeddwa nga babadde tebasuubirwa ye, Beti Olive Namisango Kamya, pulezidenti w’ekibiina kya Uganda Federal Alliance (UFA) era nga yaliko mu FDC ne Reform Agenda ng’assa kimu ne Dr. Kizza Besigye.

Omubaka wa Oyam South, Betty Amongi Ongom owa UPC era muka Jimmy Akena (mutabani wa Obote), naye Pulezidenti Museveni amugonnomoddeko obwaminisita mu ngeri eyeewuunyisa.

Eyali Minisita e Mmengo, Florence Nakiwala Kiyingi, ono nga yavuganyizza ku kifo ky’omubaka omukazi owa Kampala ku tikiti ya DP, naye Pulezidenti Museveni amuwadde ekifo n’akakasa oluvuuvuumo olubaddewo mu Bannakampala okumala akaseera.

Christopher Kibanzanga , yali Mmemba wa FDC lukulwe, kyokka n’asala eddiiro mu 2015 ne yeegatta ku NRM, naye alidde, Pulezidenti bw’amuwadde ekifo mu kabinenti.

Ono ye muto w’Omusinga Charles Wesley Mumbere. Lt. Gen Henry Tumukunde, eyawakanyaako Gavumenti n’atuuka n’okufiirwa ekifo kye mu Palamenti ng’omubaka wa UPDF mu2015, naye alondeddwa ku bwaminisita mu ngeri eyeewuunyisa.

Abadde ssentebe wa LC5 e Luweero, Haji Abdul Nadduli, naye Pulezidenti Museveni amukubagizza olw’okuwangulwa Ronald Ndawula e Luweero bw’amuwadde obwaminisita.

New Cabinet by The New Vision

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Newsengalogob 220x290

Lwaki toyagala kwegatta?

Ate okomawo ng‛obudde bugenze, kati yeebuuza obaomulimu gw‛okola gwe guleese embeera eno. Kati alowooza edduuka...

Newsengalogob 220x290

Nvaamu ekisu

LWAKI nvaamu ekisu nga neegasse n’omusajja?

Newsengalogob 220x290

Namukwatira mu bwenzi

MUKYALA wange namukwata lubona n’omusajja naye namusonyiwa.

Newsengalogob 220x290

Takyantuusa ku ntikko

omwami wange takyantuusa ku ntikko

Kamenke1 220x290

Abadde yaakayimbulwa bazzeemu okumukwatira...

Kiwanuka abadde yaakayimbulwa mu kkomera e Luzira gye yasindikibwa ku kibonerezo eky’emyaka etaano oluvannyuma...