TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Nsookera ku kutabaganya Lukwago ne Musisi - Beti Kamya

Nsookera ku kutabaganya Lukwago ne Musisi - Beti Kamya

By Musasi wa Bukedde

Added 7th June 2016

Ategeezezza nti talina buzibu ne Loodi Meeya Lukwago kubanga ye wa mirembe era ky’atandikirako kwe kutabaganya Lukwago ne Musisi, Bannakampala basobole okufuna empeereza gye beetaaga nga tewali bukuubagano.

Kamya 703x422

Beti Kamya

BYA GEORGE BUKENYA

Beti Kamya asuddewo ekibiina kye ne yeegatta ku NRM kyokka n'agamba nti enteekateeka ya Federo agenda kusigala ng’agirwanirira.    

Kamya agambye nti ekibiina kya Uganda Federal Alliance si kikye ng’omuntu wabula kya bantu Bannayuganda era ategeka kuyita ttabamiruka abaddize obwapulezidenti bwakyo abasabe balonde omulala.

Ategeezezza nti talina buzibu ne Loodi Meeya Lukwago kubanga ye wa mirembe era ky’atandikirako kwe kutabaganya Lukwago ne Musisi, Bannakampala basobole okufuna empeereza gye beetaaga nga tewali bukuubagano.

Annyonnyodde nti okuweebwa obwaminisita si mukozi wa Pulezidenti Museveni ye azze kuweereza bantu.

"Abakozi ba Museveni bali ku ffaamu ye ne ku kitebe kya NRM ku Kyaddondo", Kamya bwe yagambye.

Agambye nti ye talwanyisa Besigye ng’omuntu wabula alwanyisa nkola ye era abantu tebasaana kulowooza nti okumulonda ku bwa minisita lwakuba abadde alwanyisa Besigye.

Ategeezezza nti Pulezidenti okumulonda yasoose kwebuuza n’amanya obukozi bwe era kirabika kye yavudde amuwa ekifo kya minisita wa Kampala.

“Okuwakanya buli kiseera gavumenti tekizimba ggwanga wabula omuntu gwe balonze yenna olina okulaba ng’okwatagana naye musobole okutwala eggwanga mu maaso” Kamya bw’aggumizza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kaba 220x290

Roden Y Kabakko ne Vinka bayingidde...

Wakati mu lutalo lw’ebigambo olugenda mu maaso, Cindy yatuuse n’okugamba nti; ‘’Nneewuunya abayimbi abeeyita nti...

The 220x290

Cindy Ssanyu ne Sheebah bayomba:...

OLUTALO wakati Sheebah Karungi ne Cindy Ssanyu nga buli omu yeewaana nga bw’asinga munne okukuba emiziki n’obuganzi...

Wano 220x290

Museveni atongozza ebbibiro lya...

EKITONGOLE ekigereka ebisale by’amasannyalaze mu ggwanga ekya Uganda Electricity Regulatory Authority kigambye...

Kadaga703422 220x290

Ebikwata ku Rebecca Alitwala Kadaga...

Yazaalibwa May 24, 1956 ng’alina emyaka 63

Godo 220x290

Museveni alambudde Kadaga mu ddwaaliro...

SIPIIKA wa Palamenti Rebecca Alitwala Kadaga mwongere okumusabira. Mulwadde muyi. Abamujjanjaba mu ddwaaliro e...