TOP
  • Home
  • Agookya
  • Paasita Yiga 'Mbizzaayo' apondoose n’akkiriza okumukebera omusaayi

Paasita Yiga 'Mbizzaayo' apondoose n’akkiriza okumukebera omusaayi

By Musasi wa Bukedde

Added 8th June 2016

OMUSUMBA Augustine Yiga ‘Mbizzaayo’ agondedde ekiragiro kya kkooti eky’okugenda ew’omusawo wa Gavumenti omukulu e Wandegeya amukebere endagabutonde(DNA), okuzuula oba nga ye kitaawe w’omwana, amulumirizibwa omukazi omu nti yamumuzaalamu oluvannyuma n’amwegaana.

Ebera 703x422

Christine Nalubega n’omwana gwalumiriza okubeera owa Yiga nga bagenze okubakebera omusaayi. Paasita Yiga ( mu katono) ng’ali we bakeberera omusaayi e Wandegeya

OMUSUMBA Augustine Yiga ‘Mbizzaayo’ agondedde ekiragiro kya kkooti eky’okugenda ew’omusawo wa Gavumenti omukulu e Wandegeya amukebere endagabutonde(DNA), okuzuula oba nga ye kitaawe w’omwana, amulumirizibwa omukazi omu nti yamumuzaalamu oluvannyuma n’amwegaana.

Omulamuzi wa kkooti y’e Luweero, Fred Gidudu ye yalagidde Yiga, ow’ekkanisa ya Christian Revival e Kawaala mu Kampala, agende ew’omusawo wa Gavumenti oluvannyuma lwa Christine Nalubega okumuwawaabira nti yamuzaalamu omwana (Immaculate Taylor Kalungi, 5) n’atamuwa buyambi ng’agamba nti si wuwe.

Kino kyaddiridde omulamuzi Gidudu okubuusabuusa ebiwandiiko ebyaleeteddwa Yiga ebyalaze nti yeekebeza endagabutonde mu kifo ekimu mu Kampala ne kizuuka nga si ye taata w’omwana omutuufu bwatyo n’agaana okulabirira omwana.

Omulamuzi yagambye nti, bwino w’endagabutonde yekka gwe yeesiga y’ava ew’omusawo omukulu owa Gavumenti era ebbaulwa ye (omulamuzi) eragira Yiga okugenda ew’omukungu ono, yagifulumizza nga June 1 ku fayiro F.C.C 47/2016.

PAASITAYIGA E WANDEGEYA: Eggulo, Nalubega ye yasoose okulabikako e Wandegeya ku ssaawa 4:00 ng’ali n’abaserikale babiri wamu n’omwana Kalungi gwe yabadde yeekebejja n’okumuwembejja.

Oluvannyuma yannyonnyodde nti abaserikale yabasanze mu kibuga nga baavudde Luweero sso ng’omwana abadde alabirirwa kitongole kya bannakyewa ekya Ark Chidren Center.

Abaserikale bwe baazudde nga Paasita Yiga tannatuuka, kwe kumukubira essimu, omuyambi we n’abategeeza nti jjaamu akyabakwatidde awantu.

Oluvannyuma lw’essaawa nga bbiri n’ekitundu, Paasita Yiga yatuuse. Yajjidde mu mmotoka Noah eya kikuusikuusi nnamba UAY789S nga yeevuga wamu n’abasajja babiri.

Yasibidde mu paakingi okuliraana mmotoka endala n’alwawo okugivaamu okutuusa omu ku be yazze nabo, eyasoose okubuuza abaabaddewo oba tewali bamawulire, bwe yazzeeyo n’amukuba akaama.

Omu ku basajja be yakubidde omu ku baserikale abaasooseewo essimu era bwe yamutuuseeko n’akubira Yiga essimu ng’amuyita bagende mu musaayi. Mu kutambula okugenda Yiga amaaso yagatuusizza ku mwana Kalungi eyabadde ne nnyina Nalubega, n’amukwata (Yiga) ku mukono ng’omukazi bw’abagoberera okugenda mu musaayi.

TEBAAKEBEDDWA: Ensonda mu ofiisi y’omusawo wa Gavumenti zaategeezeza nti bonsatule tebaggyiddwaako musaayi olw’ebikozesebwa ebimu obutabaawo nga bino byakutegeezebwa omulamuzi abakkirize okubakebera oluvannyuma nga byonna weebiri.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bim1 220x290

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka...

kkooti ewadde ekiragiro ku mpaka z'obubina

Lop1 220x290

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba...

Eyawambye omwana ku ssomero n'asaba ssente poliisi emukutte

Kis1 220x290

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya...

Omulimu gw'okuzimba ekisaawe kya Nakivubo gutambula bulungi

Sarangabaagaembuzinekikondekyekunokwebayitaokugikubaekikondeweb 220x290

Ntunda mitwe gya mbuzi okuweerera...

Emitwe gy'embuzi gye nsasulwa mu kuzibaaga mwe mpeeredde abaana n'okwongerako emirimu emirala.

United1 220x290

Kiikino ekizembe kw’olabira Dubai...

DUBAI eyongedde okussaawo likodi! Ku kizimbe ekisinga obuwanvu mu nsi yonna, egasseeko ekizimbe ekyakulanga “Fuleemu”...