TOP
  • Home
  • Bugwanjuba
  • Okuwulira omusango gw’omujaasi eyatta abantu 8 kutandise

Okuwulira omusango gw’omujaasi eyatta abantu 8 kutandise

By Ali Wasswa

Added 8th June 2016

OKUWULIRA omusango gwa L/ Cp. Moses Katwesigye avunaanibwa okutta abantu munaana ne baserikale banne babiri kutandise mu lutuula lwa kkooti y’amagye e Kihihi ng’ekulirwa Col. Geoffrey Mujuni.

Brings 703x422

Katwesigye (ku ddyo) ng’awozesebwa.

OKUWULIRA omusango gwa L/ Cp. Moses Katwesigye avunaanibwa okutta abantu munaana ne baserikale banne babiri kutandise mu lutuula lwa kkooti y’amagye e Kihihi ng’ekulirwa Col. Geoffrey Mujuni.

Kkooti eno etudde mu kitundu kyennyini e Kanungu omusango gye gwaddizibwa. Kigambibwa nti, Katwesigye yafuna obutakkaanya ne muganzi we Sarah Auma eyali yaakamaliriza okutendekebwa mu by’ekijaasi n’amukuba amasasi n’atta n’omuserikale L/Cpl. Byansi Serestino eyali agezaako okubataasa.

Ng’asimbiddwa mu maaso ga ssentebe wa kkooti eno, Col. Mujuni omuwaabi wa kkooti yategeezezza nti, nga April 21, 2016 omuwawaabirwa yakuba n’atta abantu munaana ng’ababiri baali bajaasi okuli n’eyali muganzi we.

Kigambibwa nti, omuwawaabirwa ng’amaze okutta mugazi we n’omuserikale omulala, yafuluma mu nkambi e Mburamizzi n’agenda ng’akuba buli muntu eyamusala mu maaso n’abalala be yasanga mu maka gaabwe.

Mu be yatta kwaliko Olivia Gumisiliza, Maria Musimenta, Shafik Tureyakira , Pofia Kyaasimire, Medard Byamukama ne George Gumushabe.

Ate be yalumya kuliko Emmanuel Barekye ne Frank Twangyeirwe nga bano bakyali mu ddwaaliro e Bwindi Mu kuggulawo kkooti eno, omubaka vwa Gavumenti Harriet Nakamya yategeezezza abantu abazze okwerabirako ng’omujaasi ono awozesebwa nti, omujaasi ono kye yakola yakikola ku lulwe era waakuwozesebwa ng’abamenyi b’amateeka abalala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Npc03webuse 220x290

Abavubuka bayambibwe mu byobulamu...

Abavubuka basaana bayambibwe mu byobulamu basobole okwekuuma, okwejjanjabisa n'okumanyisibwa ebikwata ku byobulamu...

Coffeetree1webuse 220x290

Alina omusaayi omutono muwe amazzi...

Atalina musaayi kozesa bikoola bya mmwaanyi ofune ogukumala

Camavingajpg111 220x290

Ttiimu za Premier 3 ziswamye musaayimuto...

Camavinga, wa myaka 16 era ttiimu za Premier zigamba nti akacanga nga Paul Pogba.

Ssuubikazimba 220x290

Abakrisitaayo balabuddwa okulwa...

ABAKRISTAAYO balabuddwa okukomya okumala obudde bwonna mu masinzizo nga balindirira Katonda okubakolera ebyewuunyo...

Mbvsmpindi1web002web 220x290

Abembogo beewaanye bwe bagenda...

ABAWAGIZI n'abakungu be Mbogo beewanye nti "omunene asigala munene" oluvanyuma lwokukuba Empindi ggoolo 3-0 mu...