TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Omwana abadde azannyisa ekibiriiti asanyizzaawo wooteri

Omwana abadde azannyisa ekibiriiti asanyizzaawo wooteri

By Musasi wa Bukedde

Added 10th June 2016

Omwana abadde azannyisa ekibiriiti asanyizzaawo wooteri

Li1 703x422

Poliisi ng’emalirizza okuzikiza omuliro.

OMWANA abadde azannya akoleezezza akabiriiti n’ayokya sitoowa ya wooteeri ebadde ejjudde essubi, ebibaddemu byonna ne bisaanawo. Omuliro guno gubadde ku wooteeri ya Kampala Inn esangibwa e Kabowa.

Okusinziira ku baabaddewo, omwana baababdde bamugambye kwokya kasasiro olwo ye n’abuzaabuzibwa n’akoleeza ssubi. Abatuuze baakubidde mangu poliisi y’e Kitebi essimu era agikulira Abbey Muwonge n’atuuka naye n’akubira banne aba poliisi ezikiza omuliro.

Abatuuze baasoose kwekolamu mulimu okutangira omuliro okusaasaanira amayumba malala era bakira bakozesa mazzi ge baabadde basena mu mwala oguliraanyeewo. Oluvannyuma poliisi ezikiriza omuliro yatuuse mu ssaawa emu kyokka n’esanga obuzibu okutuuka awaabadde omuliro wennyini olw’obutabaawo kkubo limala kuyisa mmotoka.

Godfrey Okobo eyakuliddemu abazikiza omuliro, yasabye abatuuze bulijjo bwe baba bazimba balenkengawo amakubo omuyita emmotoka olw’okwetegekera embeera ng’eyabadde awo.

Yagambye nti tewali ky’amaanyi kigenda kukolebwa kukunoonyereza kuba kyategeerekese nti omuliro gwakoleezeddwa mwana mu butanwa.

Julius Asiimwe eyabaddewo ng’omuliro gukwata yategeezezza nti waabaddewo abakozi mu kkanisa ya Victory Center eriraanye wooteeri abaabadde baanika essubi okuva mu sitoowa nga baagala balibikke ku matoffaali kyokka ate nga baliko ne kasasiro gwe baayoola n’atuumibwa.

Yategeezezza nti oluvannyuma omu ku bakozi yatumye omwana ekibiriiti bookye kasasiro wabula ate omwana n’akoleezaamu ssubi ndowooza naye ng’amuyita kasasiro

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lungujja 220x290

Ab'e Lungujja bafunye Ssentebe...

Kyaddaki Ssendawula zooni e Lungujja mu munisipaali y'e Lubaga efunye ssentebe

Kiibi 220x290

Fr. Kiibi avumiridde abakulisitu...

FAAZA Deo Kiibi asinzidde mu Kitambiro kya Missa gyayimbye mu kisomesa ky'e Kasangati, n'alabula abatanawasa okusooka...

Takoze 220x290

Waswa Bbosa takoze nkyukakyuka...

OMUTENDESI wa ttiimu y’eggwanga eyabatasuussa myaka 23 afulumizza ttiimu etandika egenda okuttunka ne South Sudan...

Cahill 220x290

Tim Cahill akaabye, ng'asiibula...

Cahill yali muwuwuttanyi wa ntomo, ateeba ggoolo era nga yeesigamwako ttiimu y'eggwanga eya Australia mu mupiira....

Mutebile2 220x290

Mutebile aleese ebiwandiiko ebitakwatagana...

Ebiwandiiko ebimu obwedda biteereddwako emikono gy'abantu (signature) kyokka nga tekuli mannya gaabwe nga kino...