TOP

Minisita Ssempijja alaze byatandikirako okukola

By Musasi wa Bukedde

Added 10th June 2016

Minisita Ssempijja alaze byatandikirako okukola

Mpi1 703x422

Ssempijja ng’ali ku mwalo Kamuwunga.

MINISITA omupya ow'Ebyobulimi, Obulunzi n'Obuvubi, Vincent Bamulangaki Ssempijja ayanjudde by’agenda okusimbako essira ng’atandise okukakkalabya emirimu gye.

Mu kiseera kye kimu, Bannamasaka okuli n’abakungu beeyiye mu mu maka ge mu Kapere Cell e Lukaya mu disitulikiti y'e Kalungu ne bamukulisa okugwa mu bintu n’akwasibwa ofiisi ennene okusinga gy’abaddemu.

Ssempijja, abadde minisita omubeezi ow’ebyobulimi, agambye nti tatidde ofiisi emukwasiddwa kubanga aludde ng’alondoola ebintu Pulezidenti by’ayagala n’agumya Bannayuganda nti agenda kubaweereza baleme kujula. Abaamukyalidde kwabaddeko akulira abakozi mu Kalungu, Davis Ddembe, ssentebe wa LC V, Richard Kyabaggu ne Town Clerk wa Lukaya, Aisha Kitenda n’abalala era oluvannyuma yabalambuzza pulojekiti z’ebyobulimi z’addukanyiza mu maka ge.

Minisita yategeezezza nti, abalimi abanaalamula mu kisanja kye balina okubeera ku mulembe nga bagimusa ennimiro zaabwe n’okuzikuuma nga temuli muddo kuba bwe gunyuunyunta ebirime n’amakungula geeveera. "Ng'enda kunnyikiza emisomo mu balimi okubaggyamu endowooza ezibasigwamu abeenoonyeza ebyabwe ne babaggya ku mulamwa kubaemmwaanyi gy'okomya okugirabirira obulungi n'amakungula agateesalako kuba tekamiza," Ssempijja bwe yakkaatirizza.

N’agattako nti balina okusiga ensigo entuufu n’okusimba mu biseera ebituufu n’abasobola batandike okufukirira mu biseera by’ekyeya kuba n’akatale we kasingira okubeera waggulu. Ku bisolo, Ssempijja agamba nti, abalunzi bateekwa okuwa ebiseera amalundiro gaabwe n’anokolayo embizzi n’enkoko by’agambye nti bw’olegezaamu oyinza okukifuuwa ng’okizza munda naddala ng’obulwadde buzizinze.

Minisita eyatuuseeko ne ku mwalo gw’e Kamuwunga oguli ku nnyanja Nalubaale mu Lwera agambye nti, ennyanja eteekwa okuvubwamu ebyennyanja ebikuze. Wabula yalabudde abalya enguzi ku bavubi abatatuukiriza mateeka nti ekyo bakikomye kuba ye ebintu byonna ayagala bitambulire mu musana n’obwerufu.

“Mmanyi aboogezi boogera bingi naye ffe twetaaga bakozi omutali muzannyo. N’oluvannyuma bye tunaaba tukoze kwe banaasinziira okutuwa obubonero era mulinde mujja kulaba Ssempijja y’ani?’ bwe yakkaatirizza.

Ssempijja yasuubizza okukwatagana ne minisitule endala n’abakulembeze ku mitendera gyonna okulaba ng’obulimi, obuvubi n’obulunzi ng’abantu bamanyisibwa n’okuweebwa amagezi aganaabasobozesa okubigaggawaliramu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Liv1 220x290

Ssente za Pulezidenti zitabudde...

Ssente za Pulezidenti zitabudde aba taxi b’e Kamwokya.

Jip1 220x290

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi...

Ekyabadde mu kutuuza Bisopu w'Abasodokisi e Gulu

Mot2 220x290

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte...

Muganda wa Ssemwanga naye bamukutte ku by’okufera ssente

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda