TOP

URA eggadde essomero n’ekkolero lya walagi

By Musasi wa Bukedde

Added 10th June 2016

URA eggadde essomero n’ekkolero lya walagi

So1 703x422

KKAMPUNI esogola walagi w’omu buveera eya 3R International wamu n’essomero lya Kisugu Junior biggaddwa lwa kulemererwa kusasula musolo ogubibanjibwa.

Wabula aba kkampuni ya 3R International abasangibwa e Kawempe balabye ng’ebbanja ery’obukade obukunukkiriza 900 bubasukkiriddeko, kwe kusalawo okudduka era URA we yaggaliddewo ekkolero lino ku Lwokusatu, yasanze kyangaala.

Essomero lya Kisugu Junior okumpi ne Namuwongo mu Makindye libanjibwa 5,835,441/- era we baaliggalidde baasanze abayizi bali mu bibiina. Heedimasita teyasangiddwa ku ssomero ne bassa ssiiru ku ofiisi ye.

Essomero lyeyimirirwa Ronald Mukiibi, URA okulikkiriza okusigala nga likyakola. Naye bamunoonya. Abduslaam Waiswa, avunaanyizibwa ku babanjibwa mu URA yagambye nti abeeyimirira essomero n’ekkolero be bagenda okuteekebwa ku nninga okulaba nga basasula ssente zino.

3R International yeeyimirirwa Chawa Chandra Reddy. Kkampuni ezisukka mu 50 omuli n’ekisaawe ky’e Nakivubo bibanjibwa URA.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Basawowebuse 220x290

Abasawo bawakanya ekya gavumenti...

Abeekibiina ky'abasawo bawakanyizza ekya Gavumenti okuwola musigansimbi ssente.

Laba 220x290

Muggya wange yanjokya amata n’adduka...

NNEEVUMA ekyantwala mu bufumbo nga nkyali muto kuba ssinga si mukisa gwa Katonda, nandibadde mufu kati. Nze Asiya...

Ssenga1 220x290

Omukyala yagaana okunjoleza

MUKYALA wange buli kintu awaka akikola ng’omukyala ddala naye yagaana okwoza engoye zange era tagolola. Nafuna...

Lamba 220x290

Enkuba be yayonoonedde ebyabwe...

EKIBIINA ky’obwannakyewa kidduukiridde abatuuze b’e Muduuma abaakoseddwa enkuba omwabadde kibuyaga eyasudde amayumba...

Bajaasoomukoabanjaebintuekifsaulwokulira 220x290

Abanja bakoddomi be omutwalo

Omusajja asabye bakoddomi be omutwalo gwe yabawa ng'awasa mukyala we