TOP

Bamuttidde mu bubbi n’aleka abaana 7

By Moses Lemisa

Added 11th June 2016

ABATUUZE b'e Mulago bazingizza omuvubuka eyayingiridde munnaabwe mu matumbibudde ne bamukuba emiggo egyamukkirizza ekaganga.

Mata 703x422

Kayondo bw’abadde afaanana. Kayondo nga bamwambazza ekipiira poliisi mwe yamusanze.

ABATUUZE b'e Mulago bazingizza omuvubuka eyayingiridde munnaabwe mu matumbibudde ne bamukuba emiggo egyamukkirizza ekaganga.

Wabula nga tannafa, baasoose kumwogeza banne b’abadde abba nabo.

Yunusu Kayondo 26, omutuuze w’e Mulago II mu Bakery Zooni abadde musazi wa bisumuluzo eby’enjawulo okuli kkufulu, mmotoka, pikipiki n'ebirala.

Abatuuze b'e Mulago mu Kiwonvu Zooni be baamukwatidde mu nju ya mutuuze munnaabwe ekiro ku ssaawa 8:00 oluvannyuma lw’okweggulira n’ayingira n’abbamu ssente 200,000/- n'essimu.

Mu nnyumba yasanzeemu maama w’abaana ate nga nnyinimu agenze kusuza bafiiriddwa.

Kayondo okukwatibwa nnannyini maka yafunye omukisa n’atuukira mukiseera kyennyini nga

Kayondo tannaba kumaliriza kubba n’akuba enduulu abatuuze ne bajja ne bataayiza Kayondo.

Baamwambazza ekipiira nga baagala okumuteekera omuliro. Oluvannyuma poliisi yazze n'emutwala n’emuggalira mu kaduukulu n’atwalibwa e Mulago gye yafiiridde.

Musa Mubiru, omu ku batuuze yategeezezza nti, abantu bangi e Mulago abazze bamenyerwa amayumba n'amaduuka ng'ababbi bakozesa bisumuluzo.

Yagasseeko nti Kayondo abadde n'ekibinja ky'abavubuka b’akolagana nabo n'abasalira ebisumuluzo ne banyaga abatuuze b'omu bitundu by'e Kawempe okuli Mpereerwe, Wandegeya mu Katanga, Bwaise, Kaleerwe, Kanyanya n'ebirala.

"Kayondo abadde muvubuka musirise nnyo nga kizibu omuteebereza nti mubbi. Naye abatuuze bwe baamukubye n’ayogera banne b’abba nabo”, Mubiru bwe yategeezezza.

Agamu ku mannya ge yayogedde kuliko; Geoffrey, Deogratious ne Musoke be yagambye nti, babeera mu Katanga. Yayongeddeko nti aba bodaboda ababavuga kuliko; Eric ne Dan.

Omugenzi yalese abaana 7. Yaziikiddwa ku Lwokuna.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Aube2 220x290

Aubameyang agugumbudde abakulira...

Kitaawe, Pierre Aubame yazannyirako Gabon emipiira 80 era n’abeerako ne kapiteeni waayo wabula mu makkati ga wiiki...

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...