ABAKULEMBEZE b’abasuubuzi aba KACITA bagambye nti embalirira eyasomeddwa tegenda kuyamba kutereeza byanfuna mu ggwanga kubanga empagi enkulu eziwanirira ebyenfuna tezaakwatiddwaako.
Baagambye nti omusolo ku mafuta tegwandiyongezeddwa.
SSENTEBE KAYONDO AGAMBA:
Okwongeza amafuta kitegeeza kwongeza miwendo gya bintu. Amafuta ye yingini efuga ebyenfuna.
Ekiseera kino banneekoleragyange ate bavuganya ne Gavumenti mu kwewola mu bbanka.
Amagoba bbanka gesaba ku ssente omuntu ze yeewoze gali waggulu nnyo. Singa amagoba ga bbanka gakolebwako ne gakka, wadde amafuta gongezeddwaako ssente kiyinza okuyambako.
Nabadde nsuubira Gavumenti okussaawo omutemwa okuyamba okusitula obusuubuzi (banneekoleragyange).
Eggwanga nga South Korea lissa omutemwa gwa buwumbi bwa doola bubiri mu buli mbalirira esomebwa nga zigenda kusitula banneekoleragyange .
Ekiriwo mu ggwanga kati Gavumenti eyagala emisolo mu basuubuzi kyokka tebasizaawo makubo gasobola kubagaggawaza.
Kino nkitwaala nga kukama nte gy’otawadde biwata. Twagala Gavumenti erowooze nnyo mu kuyamba banneekoleragyange