TOP
  • Home
  • Agawano
  • Ekifo awaakutukidde dokita waakafiirawo abagagga abalala 3!!

Ekifo awaakutukidde dokita waakafiirawo abagagga abalala 3!!

By Musasi wa Bukedde

Added 12th June 2016

DR. JOSEPH Galiwango, eyasangiddwa ng’akutukidde mu kisenge ky’amaka g’azimba e Gobero mu disitulikiti y’e Wakiso, enfa ye eyongedde okutankanibwa.

Kutuka1 703x422

Amaka ga Dr. Galiwango (mu katono) agasangibwa e Ntinda.

DR. JOSEPH Galiwango, eyasangiddwa ng’akutukidde mu kisenge ky’amaka g’azimba e Gobero mu disitulikiti y’e Wakiso, enfa ye eyongedde okutankanibwa.

Omugenzi abadde n’amaka amakulu e Ntinda mu Kampala kyokka yabula okuva ku Mmande bwe yagavaamu mu ngeri ey’ekisaazisaazi ng’ategeezezza mukyala we nti agenze kugolola ku binywa (ekisassayizi) n’aleka n’essimu ye.

Oluvannyuma lw’ennaku ssatu nga bamunoonya, yazuuliddwa ku Lwokuna nga mufu, abakozi bwe baawulidde ekivundu ekiva mu kimu ku bisenge ebyabadde ebisibe.

Kati abehhanda ne mikwano gy’omugenzi beebuuza engeri gye yavuddemu mu maka ge amakulu e Ntinda, okutuuka okwesibira mu kimu ku bisenge by’amapya g’azimba e Gobero ng’abagakolako tebamulabye, sso nga kuliko ggeeti ennene esula ng’esibiddwa.

Bo abatuuze ku kyalo Gobero, eky’omu ggombolola y’e Kakiri ku lw’e Hoima, bawanuuza nti ekifo Dr. Galiwango w’azimba amaka galikwoleka si kya muzannyo nti kati ye mugagga owookusatu okufa mu ngeri etetegeerekeka.

NNAMWANDU ATTOTTOLA:

Everlyn Kyolaba Galiwango, agamba nti ye ne bba babadde baakadda okuva ebweru gye bamaze emyaka 50.

“Baze yava awaka ku ssaawa nga 8:30 ez’olweggulo ku Mmande ng’atambuza bigere n’antegeeza nti agolola ku binywa.

Olunaku lwaziba takomyewo kyokka ekyandeetera okwekanga kwe kuzuula ng’essimu ye ne ssente yabirese waka. Twamunoonya nga tetumulaba ekyatweraliikiriza ne tugenda ku poliisi y’e Ntinda ne tuggulawo omusango gw’okubula n’oluvannyuma ne tuteeka ebirango ku leediyo nga tumulanga.

 bakungubazi nga bakuhhaanidde mu maka ga aliwango e obero Abakungubazi nga bakuhhaanidde mu maka ga Galiwango e Gobero.

 

Wabula ku ssaawa nga 11:30 nga bukya ku Lwokuna omu ku bakozi abalabirira amaka gaffe e Gobero yankubidde ssimu n’antegeeza nga bwe baamuzudde mu kisenge ekimu ne mpunga.”

ENFAANANA Y’OMULAMBO:

Omulambo gwasangiddwa wansi nga kirabika okufa yali yava ku kitanda waggulu n’agwa okuliraana oluggi.

Mu kisenge mwasangiddwaamu ggiraasi bbiri n’akakebe k’omwenge gwa Tusker. Giraasi emu mwabaddemu omwenge nga poliisi yabitutte nga ebizibiti n’ebikwasa ab’oku ddwaaliro e Mulago.

ABAKOZI KYE BAGAMBA:

Jimmy Okello, omu ku balabirira amaka g’e Gobero, agamba nti; yasembayo okulaba Dr. Galiwangop ku Ssande n’amutegeeza nga ku Lwokubiri bwe baali baddaayo ne mukyala we ebweru era n’amukuutira okulabirira awaka n’obwegendereza.

“Kyanneewuunyisizza ate muka Dokita okunkubira essimu ku Mmande ng’ambuuza oba bba nali mmulabyeko e Gobero. Geeti y’amaka gano ebeera nsibe obudde bwonna kyokka kyatwewuunyisizza okumusanga mu kimu ku bisenge ng’afudde! Tetumanyi bwe yayingiramu nga tetutegedde ne yeesibira mu kisenge.”

 r aliwango ne mukyalawe yolaba Dr. Galiwango ne mukyalawe Kyolaba.

 

SSENTEBE WA GOBERO YEEWUUNYA:

Ssentebe wa Gobero, Eron Semate agamba nti omugenzi yamumanya mu 2015 bwe yagula ettaka eriweza yiika mukaaga n’atandika okuzimbako amaka n’okubasikira amasannyalaze agaali mmayiro ssatu okuva ku luguudo lw’e Hoima nga tayambiddwako muntu yenna. “Kyanneewuunyisizza omu ku batuuze bwe yakedde okunkubira essimu ng’ambikira Dr. Galiwango.

Nakoma kumulabako ku Ssande ne mukyala we bwe bajja okulambula n’okusasula abakozi baabwe ensimbi.” Dr. Collin Ssentongo, mukoddomi w’omugenzi agamba nti Dokita yabadde mulamu tteke era amawulire g’okufa gaamusanze atwala birango mu kkampuni ya Vision Group alange okubula kwe mu mpapula z’amawulire, leediyo ne ttivvi.

ABATUUZE B’E GOBERO BAWANUUZIZZA:

Baagambye nti Dr. Galiwango okufa ekibwatukira tekyabeewunyisizza kubanga ekyalo kyabwe ‘si kyangu’.

Oyo waakusatu ku bagagga be kyakasala. Abatuuze abaagaanyi okubaatuukiriza amannya baamenyedde Bukedde abamu ku bagagga abafudde ekibwatukira; Annet Kushemererwa yali mutuuze

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bak1 220x290

Omukazi afiiridde mu dduuka lye...

Omukazi afiiridde mu dduuka lye

Kab2 220x290

Museveni atongozza okugaba bbasalee...

Museveni atongozza okugaba bbasalee Bunyoro

Tum2 220x290

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera...

Bbanka enkulu emenyewo byebaayogera ku kuggala Banka

Rem2 220x290

Bawambye omuwala mu Kampala ne...

Bawambye omuwala mu Kampala ne bamutta

Rip2 220x290

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi...

Engeri omukuumi gye yakubyemu bboosi we essasi