TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Trump azzeemu okuwanda omuliro: 'Amerika yeetaaga okugaana okukkiriza Abasiraamu okuyingira eggwanga'

Trump azzeemu okuwanda omuliro: 'Amerika yeetaaga okugaana okukkiriza Abasiraamu okuyingira eggwanga'

By Musasi wa Bukedde

Added 15th June 2016

“Bw’olaba embeera eriwo tetumanyidde ddala kiki kye tukola, Omutujju eyasse abantu (Omar Mateen) gwe saagala wadde okusiinya ku linnya lye yava mu Afghanistan. Bazadde be baava mu Afghanistan ne bajja okutujoonyesa”, Trump bwe yaggumizza.

Mega 703x422

Donald Trump ayongedde okutabuka n’awanda ebikaawa. Azzeemu okukiggumiza nti, Amerika yeetaaga okugaana okukkiriza Abasiraamu okuyingira eggwanga lyabwe.

Yasinzidde ku bulumbaganyi obwakoleddwa Omar Mateen mu kifo ekisanyukirwamu mu bbaala emu mu kibuga Orlando n’atta abantu 50. Yagambye nti tagenda kuttira mugwira yenna ku liiso k’abeere omunoonyi w’obubudamu.

“Bw’olaba embeera eriwo tetumanyidde ddala kiki kye tukola, Omutujju eyasse abantu (Omar Mateen) gwe saagala wadde okusiinya ku linnya lye yava mu Afghanistan. Bazadde be baava mu Afghanistan ne bajja okutujoonyesa”, Trump bwe yaggumizza.

Obama akkirizza abanoonyi b’obubudamu 10,000 okuva mu Syria nze siyinza kukikkiriza kuddamu kubeerawo mu nsi yaffe.

Bava eyo ne bajja ne batutta, kati wulira Clinton agamba nti, agenda kwongera okubudamya abalala okuva e Syria abawera 55 ku buli 100.

Ku mulembe gwange ekyo kikafuuwe, tulina okubasunsulamu ennyo sikuyingiza wano mujjuzo ogw’okutumalako emirembe.

Tulina okuyimiriza mbagirawo abanoonyi boobubudamu abava e Syria okweyiwa wano.

Donald Trump owa Republican ne Hillary Clinton owa DP balindirira ttabamiruka w’ebibiina byabwe omwezi ogujja olwo battunke mu kalulu ka bonna mu November.

Ku bulumbaganyi obwabaddewo ku nkomerero mu kulinga Orlando yagambye nti, pulezidenti Obama bw’abeera nga tasobola kuvaayo kuvumirira batujju abo alekulire ate Clinton bw’abeera nga tasobola kuvumirira batujju n’akyasanguza nti, Abasiraamu batujju naye asaanye ave mu lwokaano lw’okuvuganya ku bwapulezidenti.

Yagambye nti, amateeka ga Amerika gawa pulezidenti enkizo okugaana omuntu yenna omugwira okumala gayingira mu Amerika kyokka Obama amala gakkiriza buli muntu ekituusizza n’abatujju okutta abantu olw’obugayaavu bw’abakulembeze.

Donald Trump ayongedde okutabuka n’awanda ebikaawa. Azzeemu okukiggumiza nti, Amerika yeetaaga okugaana okukkiriza Abasiraamu okuyingira eggwanga lyabwe. Yasinzidde ku bulumbaganyi obwakoleddwa Omar Mateen mu kifo ekisanyukirwamu mu bbaala emu mu kibuga Orlando n’atta abantu 50. Yagambye nti tagenda kuttira mugwira yenna ku liiso k’abeere omunoonyi w’obubudamu. “Bw’olaba embeera eriwo tetumanyidde ddala kiki kye tukola, Omutujju eyasse abantu (Omar Mateen) gwe saagala wadde okusiinya ku linnya lye yava mu Afghanistan. Bazadde be baava mu Afghanistan ne bajja okutujoonyesa”, Trump bwe yaggumizza. Obama akkirizza abanoonyi b’obubudamu 10,000 okuva mu Syria nze siyinza kukikkiriza kuddamu kubeerawo mu nsi yaffe. Bava eyo ne bajja ne batutta, kati wulira Clinton agamba nti, agenda kwongera okubudamya abalala okuva e Syria abawera 55 ku buli 100. Ku mulembe gwange ekyo kikafuuwe, tulina okubasunsulamu ennyo sikuyingiza wano mujjuzo ogw’okutumalako emirembe. Tulina okuyimiriza mbagirawo abanoonyi boobubudamu abava e Syria okweyiwa wano. Donald Trump owa Republican ne Hillary Clinton owa DP balindirira ttabamiruka w’ebibiina byabwe omwezi ogujja olwo battunke mu kalulu ka bonna mu November. Ku bulumbaganyi obwabaddewo ku nkomerero mu kulinga Orlando yagambye nti, pulezidenti Obama bw’abeera nga tasobola kuvaayo kuvumirira batujju abo alekulire ate Clinton bw’abeera nga tasobola kuvumirira batujju n’akyasanguza nti, Abasiraamu batujju naye asaanye ave mu lwokaano lw’okuvuganya ku bwapulezidenti. Yagambye nti, amateeka ga Amerika gawa pulezidenti enkizo okugaana omuntu yenna omugwira okumala gayingira mu Amerika kyokka Obama amala gakkiriza buli muntu ekituusizza n’abatujju okutta abantu olw’obugayaavu bw’abakulembeze.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lundaenkookongaoyagalasosikubangaabalalabalundawebuse 220x290

Biibino ayagala okulunda enkoko...

Biibino ebintu 5 ebivaako abalunzi b'enkoko okufiirizibwa, bw'obiyiga n'obissa mu nkola ng'omaze okuyingiza ssente....

Kaweesi3 220x290

Museveni atumizza bambega ba Bungereza...

Pulezidenti Museveni atumizza bambega ba Bungereza aba Scotland Yard bazuule ekituufu.

Omuvubukaasimwefrancesngaasibaomuzindalokupikipikiogulangaamakufulugewebuse1 220x290

Nagaana obwavu okunsinza amaanyi...

Bwe nalaba okutuula awamu tekuyingiza kimala ne nsalawo okunoonya abaguzi nga ntembeeya bye ntunda.

Cranes 220x290

Ssita wa Nigeria wa kusubwa ogwa...

Omuzibizi wa Nigeria Leon Aderemi Balogun azannyira mu Brighton eya Bungereza tagenda kuzannya mupiira guno olw’obuvune....

Kasibante2 220x290

Omubaka Kasibante atereezezza obufumbo...

MOSES Kasibante omubaka wa Lubaga North atereezezza amaka, bw’ayanjuddwa mu kitiibwa ku mukolo ogwetabiddwaako...