TOP

Can. Kibuuka bamubbyeeko omulambo gwa nnyina

By Benadino Kate

Added 15th June 2016

Olwakedde omutima ne gumukubira okugenda okukebera ku ntaana ya jjajja we. Zeridah Nakiyimba, 70, muwala w’omugenzi era nga y’abadde amujjanjaba, ye olwategedde ebyaguddewo essimu yasoose kugikubira Can. Ernest Kibuuka, eyabadde akomyewo e Kampala.

Canon1 703x422

Abatuuze nga beetegereza entaana omuli essanduuko mwe babbye omulambo e Mifunya, Nakaseke eggulo.

OMUZZUKULU John Kayimba yakedde okukebera ku ntaana ya jjajja we Manjeeri Nalubwama, gye yazimbye, yasanze eyasamye.

Wazzeewo akasattiro ng’abaasigadde eka bawulira enduulu efubutuka ku kiggya. Baagenze okuvaayo okudduukirira ng’akabatema nti omulambo gwa jjajja mu ntaana teguliimu!

Abamu baasoose kubiraba ng’eby’okusaaga kyokka enduulu gye baawulidde ng’ekakasa bye yabadde ayogera.

Baasitukiddemu okwolekera ekiggya we baaziise ne kibaggwaako nga balaba entaana eyasamye n’okwetegereza nga ssanduuke mweri kyokka ng’engoye n’embugo mwe baabadde bazinze omufu zibatunuulidde.

 

Ekyazzeeko gwabadde muyiggo nga bagoberera ekisinde abaatutte omulambo mwe baayise.

Baagenze okutuuka ku kkubo nga waliwo emikululo gy’emmotoka era nga kirabika abaatutte omulambo emmotoka baagirinnyisizza amagi.

Kano kalombolombo akatera okukolebwa abamu ku batambuza abafu bwe bateekawo amagi, emmotoka n’egalinnya n’egaasa. Omulambo gwe baakuuliise nagwo gwa Manjeeri Nalubwama maama wa Rev. Can. Ernest Kibuuka “Bayibuli Ebimala”, eyafudde nga bamutegekera kabaga ka myaka 100.

Can. Kibuuka yabadde tayinza kukkiriza bya kulinnya magi.

Ebibuuzo ebyasigaddewo nga beebuuza oba abaatutte omulambo baabadde basezi, babbi abanoonya eby’ebbeeyi mwe baaziise, baaluganda abaabadde bakaayana baziike e Bulamba oba basamize!

Can. Kibuuka yeewuunyizza nnyo okubeera nti baasimudde amalaalo ga nnyina. Yategeezezza eggulo nti yabadde tayinza kusonga ku muntu yenna kumulumiriza nti ye yakikoze n’asaba aba famire bakuume obumu ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso kyokka bwe kizuulibwa nti abakikoze ba mu nju, kijja kubeera kya buswavu nnyo.

Ensonda zaategeezezza nti omuzimu gw’omugenzi gwalumbye abooluganda nga gwagala aziikibwe ewaabwe e Bulamba ne basitukiramu okumunona nga bagamba nti tebalina gakubwa muzimu!

 anduuke ya maama wa an ibuuka omwaggyiddwa omulambo nerekebwa mu ntaana nolubugo Sanduuke ya maama wa Can. Kibuuka omwaggyiddwa omulambo n’erekebwa mu ntaana n’olubugo.

 

BASEZI OBA BASAMIZE?

Kayimba bwe yamaze okuzimba entaana yasigadde agirambula era yasembye okugendayo ku ssaawa 3:00 ekiro kya Mmande n’asanga ng’enkokoto enywedde olwo n’adda eka. Ku makya bwe yasanze entaana eyasamye, n’ategeeza nti ekiro ekyo yabadde awulidde ebikoona ku malaalo kyokka n’atabissaako mwoyo.

Olwakedde omutima ne gumukubira okugenda okukebera ku ntaana ya jjajja we. Zeridah Nakiyimba, 70, muwala w’omugenzi era nga y’abadde amujjanjaba, ye olwategedde ebyaguddewo essimu yasoose kugikubira Can. Ernest Kibuuka, eyabadde akomyewo e Kampala.

Rev. Samuel Katabula ne Rev. Moses Kayimba ow’e Namasuba baazambalidde ku mugongo nga nswa ne boolekera Nakaseke mu Bulemeezi okulaba ekiguddewo. Baasanze abatuuze bali ku muyiggo gwa mulambo!

 batuuze nga batunuulira embugo omwabadde omulambo Abatuuze nga batunuulira embugo omwabadde omulambo.

 

Abamu ku batuuze baagambye nti balabika basezi be baakoze ekikolwa kino. Abalala ne bagamba nti abaagala obugagga be baakikoze ng’osanga waliwo omusamize eyabatuma omulambo gw’omukadde ow’emyaka 100.

Bagamba nti ssinga babadde babbi, lwaki essanduuko ey’ebbeeyi n’engoye endala baabireseewo?!

Abatuuze era baabadde balumiriza nti osanga abamu ku booluganda abaali baagala omugenzi aziikibwe e Bulamba be baasimudde entaana.

Omutuuze, Tom Kaseenene era muliraanwa yagambye nti abooluganda bwe babeera nga be baasimudde entaana, baakoze kikyamu kuba omugenzi yalaama kuziikibwa we baaziika bba, Bulasio Muwanga.

Alice Ntabadde, ng’omugenzi abadde ssenga we, yagambye nti si be baasimudde omufu kuba ssinga be baakikoze, bandibadde bategedde, mpozzi ng’olukwe lwalukiddwa abooluganda abalala be bataakwataganye nabo.

Samuel Kato, ssentebe w’e Mifunya (omulambo gye gwaziikuddwa) yagambye nti guno gwe mulundi ogwasoose okulaba ekintu ekifaanana bwe kiti ku kyalo ky’akulembera ne yeeyama nti baakukolera wamu ne Poliisi okuzuula ekituufu.

POLIISI ERI KU MUYIGGO

Eyasimudde entaana poliisi bw’emukwata esooka kumuggulako musango gwa kutawaanya ddembe lya mufu.

Omuduumizi wa poliisi mu disitulikiti y’e Nakaseke Justus Asiimwe yagambye nti bagguddewo omusango ku SD: 07/04/06/16 okunoonyereza n’okuvunaana abaasaalimbidde we baziika abantu ne batataaganya eddembe ly’omufu.

Mu bitundu by’e Busoga n’e Bugerere, waliyo omuze gw’abasamize okuziikula emirambo gy’abantu ababadde ab’amaanyi ne bagiggyako akawanga ne bakatwala okukalaguza, kyokka era kirowoozebwa nti kyavudde ku nkaayana mu b’enju omuli n’abeekwasa omugenzi okululuma nti yandiziikiddwa ku biggya by’ekika kye wadde kigambibwa nti abadde yalaama kumuziika ku kiggya we baaziika bba.

Mu ngeri y’emu bannaddiini bagamba nti eby’omuzimu byekwaso kubanga omugenzi abadde munnaddiini ddala nga tayinza kuba na muzimu gutawaanya bantu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Occc 220x290

Abagagga 36 baggyiddwaako abaserikale...

ABAGAGGA mu bitundu bya Kampala, Wakiso, Mukono, n’awalala baggyidwaako abaserikale abaabaweebwa eyali akulira...

Nyimba 220x290

Balaze embalirira y’ensimbi z’emisinde...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga yeebazizza minisitule y’ebyobulamu olw’okukwata obulungi ebintu Obwakabaka bye bwagiwa...

Mknsamia4 220x290

Omubaka gwe yazaalamu omwana n'agaana...

Omubaka wa palamenti agaanye okuwa obuyambi omuwala gwe yaggya mu bbaala n’amuzaalamu omwana-yeekubidde enduulu...

Bba 220x290

Bba w’omuserikale bamukwatidde...

BBA w'omuserikale wa Poliisi bamukwatidde mu bubbi ng’amenya edduuka abatuuze ne bamukuba ne bamwasa omutwe ne...

Soma 220x290

Abaana ba baze be nnakuza bangobaganya...

NZE Rebecca Namubiru, omutuuze w’e Kirinya Main mu Division y’e Bweyogerere mu Munisipaali y’e Kira. Neevuma lwaki...