TOP

Abanene beesomye okulemesa Trump entebe

By Musasi wa Bukedde

Added 21st June 2016

KAMPEYINI ey’okulemesa nnaggagga Donald Trump okwesimbawo ku bwapulezidenti wa Amerika ku kkaadi y’ekibiina kya Republican yeeyongedde ebbugumu!.

Fuyi 703x422

Donald Trump

KAMPEYINI ey’okulemesa nnaggagga Donald Trump okwesimbawo ku bwapulezidenti wa Amerika ku kkaadi y’ekibiina kya Republican yeeyongedde ebbugumu!.

Nnaggagga Trump yawangudde akamyufu k’ekibiina kya Republican nga kati alinze lukiiko ttabamiruka olw’ekibiina okumukakasa nga bw’eri enkola mu byobufuzi bya Amerika.

Kyokka waliwo abamu ku banene mu kibiina kya Republican abaagala okumukomya ku munaabo. Abeesimbye mu Trump bagamba nti nnaggagga oyo katwewungu atalina ky’ategeera ku byabufuzi, Abamerika tebayinza kumwesiga kutuula mu White House.

Bagamba nti singa yeesimbawo ku tikiti ya Republican, agenda kubawanguza Hillary Clinton ow’ekibiina kya Democratics.

Okusinziira ku mawulire aga Washington Post, enteekateeka ez’amaanyi zikoleddwa n’ensimbi eziri mu bukadde n’obukadde bwa ddoola zisondeddwa okulemesa Trump okuwangula tikiti eya Republican mu lukung'aana ttabamiruka.

Olukung'aana ttabamiruka olw’ekibiina kya Republicans lutegekeddwa mu kifo ekiyitibwa Quicken Loans Arena “The Q” e Cleveland mu ssaza ly’e Ohio wakati wa July 18 – 21, 2016.

Wabula abamu ku bammemba b’olukiiko ttabamiruka bateekateeka okuleeta ebiteeso mu lukuhhaana nga baagala amateeka ga ttabamiruka gakyusibwemu, buli mmemba wa ttabamiruka yeesalirewo oba ddala Trump asaanidde.

Amateeka ga ttabamiruka wa Republican gagamba nti omuntu yenna okuwangula tikiti okwesimbawo, ateekwa okuwangula akamyufu k’ekibiina obululu obutakka wansi wa 1,237 obw’ababaka mu lukung'aana ttabamiruka (delegates).

Ttabamiruka w’aba Republican atuulamu ababala 2,472 bonna awamu. Trump yeesunga kulangirirwa nga kandideeti wa Repulican oluvannyuma lw’okuweza abakiise 1,542 mu kulonda okw’akamyufu mu masaza 50.

Kyokka kampeyini etuumiddwa ‘Free the Delegates’ egendereddwaamu okulemesa Trump yeeyongedde ebbugumu era enkambi ya Trump etuula bufoofofo. Kino bwe kiyitamu, kitegeeza aba Republican kuleeta muntu mulala avuganye Hillary Clinton.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanywarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...

Omwanangasenaamazzikuluzziwebusemwana 220x290

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala...

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe