TOP
  • Home
  • Masaka
  • Abalina amasabo mu Kalungu baakuwandiika abagendayo

Abalina amasabo mu Kalungu baakuwandiika abagendayo

By Ssennabulya Baagalayina

Added 21st June 2016

EBIKOLWA by’okusaddaaka abaana ebizzeemu mu ggwanga biwalirizza ab’ebyokwerinda mu Kalungu okuttukiza ebikwekweto by’okufuuza abasawo abafere abali mu kitundu kyabwe.

Masabo1 703x422

Ow’ebyobuwangwa Norah Nakuya (akulembedde) n’ofi isa wa poliisi John Asiimwe (asembye em,abega) nga balambula amasabo.

Bya SSENNABULYA BAAGALAYINA

EBIKOLWA by’okusaddaaka abaana ebizzeemu mu ggwanga biwalirizza ab’ebyokwerinda mu Kalungu okuttukiza ebikwekweto by’okufuuza abasawo abafere abali mu kitundu kyabwe.

Poliisi yeegasse n’abatwala ebyobuwangwa n’ennono mu kufuuza abasamize abataagoberera mateeka bwe baali bajja mu kitundu kino.

Omukwanaganya wa poliisi n’abantu baabulijjo mu Kalungu , John Francis Asiimwe n’owebyobuwangwa, Norah Nakuya be baakulembeddemu ekikwekweto kino ng’essira baasinze kulissa ku balina amasabo nga tebeewandiisa ku disitulikiti.

Okwongera okunywezza ebyokwerinda, balagidde abalina amasaso okuwandiika abantu bonna abagendayo, abalina amasabo bonna okukakasa nga beewandiisizza ku disitulikiti wamu n’okugoberera amateeka agaabaweebwa nga beewandiisa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo