TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Trump acacanca olwa Bungerera okuva mu mukago gwa European Union

Trump acacanca olwa Bungerera okuva mu mukago gwa European Union

By Musasi wa Bukedde

Added 26th June 2016

AKALULU ka Bungereza okuva mu mukago gwa Bulaaya kongedde Donald Trump amaanyi n’alumba Barack Obama ne Hillary Clinton nti tebakyalina gaalubindi zirengera bantu bye baagala.

Trump 703x422

Trump

WASHINGTON DC, Amerika

AKALULU ka Bungereza okuva mu mukago gwa Bulaaya kongedde Donald Trump amaanyi n’alumba Barack Obama ne Hillary Clinton nti tebakyalina gaalubindi zirengera bantu bye baagala.

Trump yagambye nti Obama okugenda e Bungereza n’akunga Abangereza okuwagira eky’okusigala mu mukago nga tafuddeeyo ku nsonga abaagala okuva mu mukago ze boogerako, kyoleka bulungi nti ye n’aba Democrats banne omuli ne Hillary Clinton tebakyafiirayo ddala ku binyiga bantu.

Trump yayongedde akazito ku Clinton gw’asuubira okuvuganya naye mu kalulu ka Pulezidenti wa Amerika akakubwa nga November 8, 2016 nti talina mugongo atambulira ku Obama by’ayogedde.

Mu lukuhhaana lwa bannamawulire, Trump yagambye nti, Obama aba kuwagira Bungereza eve mu mukago, ne Hillary Clinton ekyo kye yandiwagidde.

Bungereza yakubye akalulu ku Lwokuna era abalonzi 17,410,742 (ebitundu 51.9%) ne bawagira okuva mu mukago gwa Bulaaya ne bamegga abalonzi 16,141,241 (ebitundu 48.1 ku 100) abakubye akalulu nga bawagira okusigala mu mukago.

Katikkiro wa Bungereza David Cameron (Conservative Party) ng’ali ne mukaziwe Samantha yategeezezza eggwanga nti alekulidde obukulembeze bw’eggwanga era ofiisi waakugiwaayo mu October w’omwaka guno.

Jeremy Corbyn (Labour Party) akulira oludda oluvuganya Gavumenti naye bamutadde ku nninga alekulire kubanga naye abadde awagira okusigala mu mukago mwe bamaze emyaka 43, wabula akyeremye.

Okusigala mu mukago kwawagiddwa nnyo aba Scotland ne Northern Ireland era okubawangula kyasaanudde ab’e Scotland ne bagamba nti ky’ekiseera baddemu akalulu ak’okwekutula ku bukulembeze bw’e London kubanga bye baagala ate abantu b’e Scotland ssi bye bakkiririzaamu.

Abangereza abaawagidde okuva mu mukago baasinze kwesigama ku kya nsalo za Bungereza ezaggulwa ne kiwa ab’amawanga agali mu mukago okweyiwa mu Bungereza era omwaka oguwedde baayingiza abagwira emitwalo 33 kye bagamba nti kya bulabe.

Trump yayozaayozezza abaakubye akalulu okuva mu mukago n’agamba nti aludde ng’ategeeza Abamerika nti teri nsi ekula ng’emala gayingirirwa bagwira kyokka abamu nga bamuyita musosoze, nga tebafuddeeyo kumanya nti abagwira bakosa enteekateeka ya Gavumenti kubanga teri aba yabategekera ate abasinga baba tebeesobola nga balina kulabirirwa bintu bya Gavumenti.

Hillary Clinton ng’ayogera ku kalulu kano yagambye nti kalina okuggula amaaso g’Abamerika bakimanye nti beetaaga omukulembeze alina obumanyirivu kubanga okusomoozebwa naddala ku nkolagana ya Amerika n’amawanga amalala kweyongedde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Annotation20190722173519 220x290

Banjoman muto wa Bobi Wine alina...

Banjoman muto wa Bobi Wine alina ke yeekoleddewo

Annotation20190722170617 220x290

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta...

Omwana eyattibwa aziikuddwa: Eyamutta abadde yamuziika mu nju

Annotation20190722170129 220x290

Ssentebe asobezza ku bazukulu be...

Ssentebe asobezza ku bazukulu be 2: Poliisi eyazizza amakaage ng'adduse

Dem2 220x290

Omukazi atuludde abasajja entuuyo...

Omukazi atuludde abasajja entuuyo

Hit2 220x290

Champion bagenze bakolima

Champion bagenze bakolima