TOP

Wamono: Okikola otya?

By Musasi wa Bukedde

Added 1st July 2016

Robert Wamono alina amasomero ana, ebizimbe, amaduuka g’eddagala n’ebitongole ebiwola ssente era nga ye minisita w’ebyensimbi n’okusiga ensimbi mu bwakyabazinga. Leero akulaga bizinensi emu bwe yamutuusanga ku birala.

Buwa 703x422

Wamono ng’ali ewuwe.

Robert Wamono alina amasomero ana, ebizimbe, amaduuka g’eddagala n’ebitongole ebiwola ssente era nga ye minisita w’ebyensimbi n’okusiga ensimbi mu bwakyabazinga. Leero akulaga bizinensi emu bwe yamutuusanga ku birala.

lMu 2008 nga nkyali omukulu w’essomero lya Nango P/S nagula ettaka yiika ssatu mu kabuga ka Nango kwe nazimba essomero lya Nango Township P/S era ng’abasomesa be natandika nabo kwaliko mukyala wange Eseza Namuli ne mwannyinaze Agnes Nambuya.

l Essomero nalitandika n’ekigendererwa ky’okuyamba abazadde bamufuna mpola era fiizi zaali wansi okusinga agaali gatuliraanye bw’ogattako bw’erityo abayizi ne beeyongera n’enfuna ssente okuzimba amalala mu bitundu omutaali masomero nga Hill View Parents School e Bumwenha, Kyabazinga P/S e Nakigo ne Bwondha Road P/S.

l Engeri gye nali omukulembeze mu kitundu kino ate n’obwongo bwa bizinensi, nalabawo obwetaavu bw’eddagala naddala eri abalunnyanja abaali ku bizinga kye nava ntwala mukyala wange Namuli ne Mwannyinaze Nambuya mu ttendekero ly’abasawo bayige okuddukanya amaduuka g’eddagala n’okulitunda.

l Natandika eduuka ly’eddagala erya Genesis Drug Shop ku kizinga kya Bwondha era bwe lyatandika okukola obulungi ne nneewola okuva mu banka ne ntandikawo amaduuka amalala abiri e Nango n’eddala mu kabuga k’e Malongo.

l Mu kitundu kino era waaliwo ekizibu ky’okusula naddala eri abavubi n’abasuubuzi abaggyanga okusuubula ne balekebwa amaato era wano nazimba wooteeri ya Shebene Guesthouse mu 2008 ku bizinga bya Bwondha ate oluvannyuma ne nzimba Nabumali Guesthouse e Mbale.

l Mu ngeri y’emu nayagala nnyo okuyamba abantu okwejja mu bwavu era wano nayambako abantu okutandikawo ebibiina by’obwegassi (Malongo Integrated SACCOs) nga ntandika n’abasomesa bange era nga twatandika na 700,000/- okutereka nga buli musomesa yaterekanga wakati wa 10,000/- ne 25,000/- ne bamemba 15 olwo ne tubawola ku magoba ga 3 ku 100.

l Ku nkomerero ya 2012, twalina ba memba 100 nga tuterese okutuuka ku bukadde 98 olwo ne tutandika okuggulawo amatabi e Magamaga n’e Iganga nga mu kiseera ettabi lya Iganga lirina bamemba 2,300 era nga tuguze ebintu eby’enjawulo ng’ettaka, mmotoka ezitambuza ssente, tugaba pikipiki ku bbanja n’ebirala. l Mu 2012 nayingira omulimu gwa leediyo ne nzigulawo Safari Fm mu kabuga k’e Mayuge kyokka eno yansala kubanga tevaamu ssente nga bwe nasuubira.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Nsamb6webuse 220x290

Abeddira Engabi balabuddwa ku kufumbiriganywa...

Omukulu w'ekika ky'Engabi Ensamba, Alysious Lubega Magandaazi avumiridde bazzukulu ba Nsamba abeewasa nga beekwasa...

Hosp81webuse 220x290

Bakansala basimbidde eky’okuddiza...

Bakansala mu lukiiko lwa munisipaali ya Mukono baagala eddwaaliro lya Mukono waakiri lireme kusuumusibwa bwe liba...

Weblweranew 220x290

Tetuzze kugoba balimira mu Lwera...

Dayirekita wa NEMA, Dr. Tom Okurut yatangaazizza nti abakugu baabwe baasooka kwekenneenya ttaka lino nga tebannawa...

Rwe11 220x290

Bannalwengo boogedde ku bulamu...

Bannalwengo boogedde ku bulamu bwa Getrude Nakabira

Love 220x290

Nnannyini ssomero bamusimbye mu...

ASADU Wamala nannyini ssomero lya Wamala Mixed SS e Mpigi leero azzeemu okusimbibwa mu maaso g”omulamuzi Moureen...