TOP
  • Home
  • Okikola Otya
  • Leero mu okikola otya: Ensako eyansasulwanga ku yunivasite ye yali kapito wange

Leero mu okikola otya: Ensako eyansasulwanga ku yunivasite ye yali kapito wange

By Musasi wa Bukedde

Added 4th July 2016

Abakyala batono abasobola okwogerwako ng’abalina ke beekoledde ng’ebintu tebaguddeemu bigwe. Bwe weekkenneenya obulamu bwa Robinah Namukasa Ndawula 46, ow’e Nansana Zooni 7/8 obukakaalukanyi bw’ayiseemu, tosobola kumwewuunya okuba nti ye nnannyini kifo kya Sanyu Comfort Gardens and Lodges e Maya ne Sanyu Apartments e Wakiso.

Okikola 703x422

Namukasa n’ebimuku bisulo by’ekifo ky’e Maya

Abakyala batono abasobola okwogerwako ng’abalina ke beekoledde ng’ebintu tebaguddeemu bigwe. Bwe weekkenneenya obulamu bwa Robinah Namukasa Ndawula 46, ow’e Nansana Zooni 7/8 obukakaalukanyi bw’ayiseemu, tosobola kumwewuunya okuba nti ye nnannyini kifo kya Sanyu Comfort Gardens and Lodges e Maya ne Sanyu Apartments e Wakiso.

lBakadde bange ye mugenzi Yusuf Matovu n’omukyala Esereda Nampanga e Kabalungi mu disitulikiti y’e Masaka. Maama si ye yali mu maka era okukula kwange kwonna gwe nnali naye.

l Maama yatuzaala babiri era ne tukulira e Maya ku kyalo Bujasi. Wadde twali banaku, maama yali mukozi era yafuba okukola buli ky’asobola okulaba ng’atuweerera. Yalimanga emmere omwali muwogo, lumonde, ennyaanya n’amapaapali bye yatikkanga ku loole ezijja mu katale ka Owino mu Kampala buli ku makya n’abitunda okufunamu ssente. Yampeerera mu Nsangi C/U P/S gye natuulira P7 mu 1985.

l Nayita P7 ne nneegatta ku Christ The King Kaliisizo mu S1. Obutafaanana ne bannange bakadde baabwe be baawerekeranga ku ssomero, nze nga maama tayagala kwonoona ssente mu ntambula kuba zaabangako ebirala bye zikola.

l Embeera eno yannyamba okukula nga ndi mukakaalukanyi. Kuno maama naye yagattangako okunkuutira nsome tusobole okweggya mu bulamu bwe twalimu. Ekituufu, Kaliisizo waali wala, maama kwe kusalawo okunkyusa naziza e Mitala Maria SS gye natuulira S4 mu 1989.

l Bwe namala S4, saatuula waka, nasalawo nnoonye kye nnyinza okukola okufunamu ku ssente okuwewula ku maama. Nasaba omulimu mu ssomero lya St. Joseph e Maya ne nsomesanga abayizi ba P6 ne P7. Nasasulwanga 30,000/- buli mwezi, maama kwe yayongereza ne nneeyongerayo okusoma ku Progressive SS ebigezo ne mbituulira ku Chwa II Memorial College e Namungoona.

l Nneegatta ku ttendekero ly’abasomesa erya National Teachers College e Mubende kyokka nga buli luwummula nzira ku St. Joseph ne nsomesa. Nga mmaze e Mubende, nanoonya omulimu okutuusa omwami Perepetwa Lubwama lwe yagumpa ku ssomero lye nga buli mwezi ansasula 80,000/-.

l Mu 1995, mukama wange yanzikiriza okuddayo okusoma e Makerere kubanga nali hhenda kusomera bwereere diguli y’obusomesa. Nga ndi e Makerere saatuula kuba nalina ekirooto ky’okuggya maama mu mbeera embi bwentyo nasigala nkuba ekyeyo mu masomero ng’omu Kampala.

l Ssente z’ensako ze nasasulwanga ku yunivasite naziterekanga ne mpeza obukadde 3 nga zino ze nakozesa okugula yiika 2 e Maya ne nzimbirako ne maama ennyumba.

l Olwava ku yunivasite mukama wange yampa omukisa okuddamu okusomesa ku ssomero lye erya Buloba High School. Mu kiseera kino nafuna ekirooto ky’okukulaakulanya ekitundu ky’ettaka lyange lye nnali nguze. Nasooka kulimirako mmere nga bwe ngitunda.

l Mu 2010, nafuna ekirowoozo ekikola ekifo ky’ebimuli omuwummulirwa okwongera ku nnyingiza yange. Wadde ssente ze nalina zaali ntono, naye natandika okwekwatiramu ng’okwesimbira omuddo. Mukwano gwange Annet Nanfuka bwe yajjako mu kifo, kyamusanyusa n’ayongera okunfunira ku bikozesebwa n’omwami wange kwe yangattirako. Biki ebimuyambye okutuuka w’ali? Linda enkya

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...