TOP

Ekiragiro kya RDC ku nnyanja kitabudde abavubi

By Musasi wa Bukedde

Added 7th July 2016

Ekiragiro kya RDC ku nnyanja kitabudde abavubi

Mu1 703x422

Abavubi nga bali ku mwalo gw’e Kiyindi.

EKIRAGIRO omubaka wa Gavumenti (RDC), ow’e Buvuma kye yawadde abavubi ku nnyanja kibatabudde abamu ne bawalirizibwa okuyimiriza okuvuba nga bagamba nti ekyakoleddwa kibanyigiriza.

Abavubi ba mukene ku mwalo gw’e Kiyindi mu disitulikiti y’e Buikwe bagamba nti RDC, okubalagira okusooka okuva ku ky’okugenda mu mazzi ageewala okuvubirayo, okutuukira ddala ku bizinga by’e Lyabaana wasinga okuva empuuta okumala ebbanga lya myezi esatu bakiraba ng’okubalemesa okukola omulimu gwabwe kwe kusalawo okuyimiriza okuvuba okutuusa ng’ensonga zaabwe zitunuddwaamu.

Embeera eno emaze wiiki ssatu yajjawo oluvannyuma lwa RDC Kyeyune Ssenyonjo okuyingira mu nkaayana wakati w’abavubi ba mukene n’abavuba empuuta ezirudde nga ziremeddwa okugonjoolwa.

Mu lukiiko Ssenyonjo lwe yayita olwatuulamu abavuba mukene n’ab’empuuta ku kitebe kya disitulikiti e Buvuma, enjuyi zombi zaavaawo tezikkaanyizza kyokka RDC n’assaawo ekiragiro kye baalina okugoberera ng’abavuba mukene baakiraba ng’okubanyigiriza.

Bagamba nti Ssenyonjo okuwa ensala ye yali akolera ku ntoli z’abavubi b’empuuta nabo kwe kugaana okukkiriza ekiragiro kye. Ssenyonjo yategeezezza nti abavubi ba mukene e Kiyindi balabika balina bye beenoonyeza.

“Ensalawo yange nagyesigamya ku kukuuma obutebenkevu ku nnyanja, abavuba empuuta basigale ewaabwe n’abavuba mukene bwe batyo ng’ensonga zaabwe bwe zongera okwetegerezebwa.

Kino kijja kutwala emyezi esatu gyokka tuddemu tusisinkane tuveeyo n’amagezi ag’enkomeredde,” Ssenyonjo bwe yagambye. Omubaka w’e Buvuma mu Palamenti, Robert Migadde Ndugwa yategeezezza nti enjawukana z’abavubi bano zibadde zisajjuse ne batuuka n’okugenda okuvuba nga bakutte amajambiya n’emiggo nga wabaddewo okutya nti bakyayinza okutihhana.

Migadde yagasseeko nti embeera eyasalibwawo olw’obulungi n’obutebenkevu bw’abavubi ab’enjuyi zombi waliwo abagezigenzi abaagala okugifunamu nga bawubisa abavuba mukene ne babagaana n’okuvuba kye yagambye nti kikyamu.

“Mmaze okukitegeerako nti abagezigezi abo abasinziira ebweru wa Buvuma bagaanye n’abavubi ba mukene okuvuba era babasoloozaamu ssente nga basussizza ne mu bukadde 70 mbu bagenda kuwawaabira RDC olw’okubagaana okuvuba. Nze nsaba abavubi e Buvuma okuwa obudde n’okuteeka mu nkola ekiragiro kya RDC kuba kiriwo ku lwa bulungi bwaffe ffenna okutwalira awamu,” Migadde bwe yagambye.

Abavuba mukene baasabye Gavumenti eyingire mu nsonga zaabwe kuba embeera eyassibwaawo RDC bagiraba nga ey’okubanyigiriza. Bagamba nti si be bafiirwa bokka wabula abasuubuzi naddala ababadde bamutwala ebweru. Gavumenti efiiriddwa omusolo mungi gw’ebadde efuna ng’ate ekyagufiirwa singa tewabaawo kikolebwa mu bwangu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa