TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • Abaddugavu mu Amerika bakaaye ne bakuba abapoliisi 11

Abaddugavu mu Amerika bakaaye ne bakuba abapoliisi 11

By Musasi wa Bukedde

Added 9th July 2016

EMBEERA etabuse mu Amerika, Abaddugavu ababadde beekalakaasa olwa poliisi okutemula bannaabwe basatu, bwe beekyaye ne basindirira boofiisa 11 (ba poliisi) amasasi, bataano ne bafa ate abalala mukaaga ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

Tata 703x422

Abamu ku Baddugavu abaakwatiddwa nga bateekebwa ku mpingu

EMBEERA etabuse mu Amerika, Abaddugavu ababadde beekalakaasa olwa poliisi okutemula bannaabwe basatu, bwe beekyaye ne basindirira boofiisa 11 (ba poliisi) amasasi, bataano ne bafa ate abalala mukaaga ne bafuna ebisago eby’amaanyi.

Ensasagge eno ebaddewo mu kiro ekyakeesezza eggulo (Lwakutaano), yeewanisizza Pulezidenti Barack Obama emitima naddala ng’okulonda kwa Pulezidenti kubuzaayo emyezi ena.

Obama bimusobedde n’alangira poliisi okuba ennafu ng’ekola ku nsonga z’Abaddugavu ate nnaggagga Donald Trump, ali ku tikiti ya Republican, ayagala okumusikira ku Bwapulezidenti n’amuvumirira nti kano kabonero akooleka nti ekibiina kye (DP) kikoowu kisaana kuva mu buyinza.

Ku ssaawa 2:45 ez’ekiro ky’Olwokuna, Abaddugavu babiri okuva mu bbiina ly’abantu abaabadde beekalakaasa mu kibuga Dallas eky’essaza ly’e Texas, baasindiridde boofiisa 11 aba poliisi amasasi, 5 ne bafiirawo, 3 bali mu mbeera mbi nnyo ate abalala 3 baafunye ebisago ebitonotono.

Kino kyaddiridde Abaddugavu babiri, Alton Sterling ne Philando Castile okusangibwa nga battiddwa mu Dallas ekyatuusizza abantu okwekalakaasa n’ebimu ku bipande nga bisoma,“Muwanike emikono, Mukomye okututugumbula…!” n’ebirala.

Poliisi yakutte abantu babiri abateeberezebwa okwenyigira mu ttemu lino nga bano baabadde mu mmotoka Benz enzirugavu eyasimbudde ku sipiidi amangu ddala nga boofiisa baakakubwa amasasi. Omusajja omulala, Misty McBride eyabadde akaalakaala n’emmundu mu kibuga Dallas naye poliisi yamukutte n’agitegeeza nti, “Ekyo kikyali kituuza, olutalo lutandika butandisi.”

 bamu ku azungu nabo beegasse ku addugavu okwekalakaasa Abamu ku Bazungu nabo beegasse ku Baddugavu okwekalakaasa.

 

POLIISI ERAZE OKUTYA:

Akulira poliisi y’e Dallas, David Brown yagambye nti obutemu obwakoleddwa si bwa bulijjo kuba bwategekeddwa mu ngeri ey’ekikugu era nga waliwo n’okutya nti wandibaawo bbomu ezaategeddwa mu bifo ebimu mu Amerika.

“Ku bye twakazuula ku butemu buno, ebintu tebisaana kusaagirwamu,” Brown bwe yategeezezza abaamawulire n’agamba nti eby’Abaddugavu abaatemuddwa byandiba nga byayambye buyambi bantu kwekwekamu naye ng’obuzigu bwali bwategekebwa dda,” bwe yagasseeko

Ku biraga nti obutemu si bwa bulijjo, Brown yamenye eky’obuvumu abantu ababiri bwe baalaze okuva mu beekalakaasi ne basindirira boofiisa be amasasi ate ng’omu baagamukubye agezaako kukwata omu ku Baddugavu. Yayongeddeko abasse boofiisa baabadde n’obukooti obutayitamu masasi ekiraga nti beetegekera olulumba.

Yagambye nti abaakwatiddwa tebaalaze kunyolwa kwonna bwe baagambye nti, “Enkomerero etuuse. Mulowooza mujja kututta mutumalewo naye bbomu zaategebwa dda yonna gye muyitira, mu bizimbe, ggalagi n’awalala.”

MEEYA ALAAJANYE:

Mike Rawlings, Meeya w’e Dallas nga munyiikaavu, yagambye nti, “Eyatwalula esiridde. Eno y’encukwe ekyasinze okuba ey’amaanyi mu Dallas.”

Obutambi bwa vidiyo obwakwatiddwa kkamera z’omu Dallas bulaga ng’abasse boofiisa baabadde mu bukooti obutayitamu masasi era ofiisa omu eyeesigamye empagi n’agezaako okubaddiza amasasi, yakubiddwa amasasi mu mugongo n’akalirawo. Obutambi era bulaga ng’abasajja bano baabadde baagala kulumya oba okutta boofiisa abasingawo.

Waliwo n’omusajja eyabadde mu mmotoka akatambi gwe kalaga nga boofiisa bamuyimiriza ku mudumu gw’emmundu. Ono oluvannyuma yagitegeezezza nti yabadde atambula gage teyabadde mu beekalakaasa.

 bantu abawakanya okuttibwa kwbaddugavu Abantu abawakanya okuttibwa kw’Abaddugavu.

 

OBAMA ANENYEZZA POLIISI:

Pulezidenti Obama nga yenna muwooteevu, yagambye nti ensonga eno si ya Baddugavu bokka wabula ya Bamerika bonna n’asaba poliisi okuyisa bannansi bonna ekyenkanyi. “Ettemu ly’amasasi ery’enfunda eziwerako lye tulabye tuleme kulifuula lya Baddugavu bokka. Likwata ku Amerika yonna ate mujjukire obusambattuko bungi bukulembeddwa ebintu nga bino,” Obama bwe yategeezezza.

“Abantu batuuse ku mbeera eyeebuuza nti tukoze tutya okufuna obwenkanya? Poliisi ngiwa ekitiibwa naye ebintu ebimu ebikutte kasoobo ne kireetera abantu abamu okwekyawa. Enkyukakyuka eruddewo ate nga bo abantu bagyagalirawo,” bwe yagasseeko.

GAV’T YA OBAMA NKOOWU – TRUMP

Avuganya ku Bwapulezidenti bw’Amerika, nnaggagga Donald Trump yalumbye Obama nti mukoowu ne gavumenti ye nga tekyasobola kukuuma bulamu bwa bannansi b’Amerika. Yagambye nti ye yekka asobola okumalawo obuvuyo buno kuba ategeera bulungi entandikwa n’eddagala lyabwo.

ABANENE BAKUNGUBAZE:

  • Mark Zuckerberg, nnannyini mukutu gwa facebook yagambye nti kyakusaalirwa kungi okw’Abaddugavu abattiddwa e Dallas n’anenya poliisi obutakwata bulungi nsonga.
  • Omuyimbi Beyonce naye yasaasidde ennyo abehhanda z’Abaddugavu abattiddwa poliisi ku Lwokusatu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...