TOP
  • Home
  • Amawulire
  • Bannayuganda abali e Sudan basobeddwa: Emmundu etokota buteddiza

Bannayuganda abali e Sudan basobeddwa: Emmundu etokota buteddiza

By Musasi wa Bukedde

Added 11th July 2016

Ng’emmundu etokota, abajaasi ba South Sudan baagufudde mugano okunyagulula ebyamaguzi mu maduuka ga Bannayuganda.

Malakalfleeviolenceon18feb2016afp14992 703x422

Ng’emmundu etokota, abajaasi ba South Sudan baagufudde mugano okunyagulula ebyamaguzi mu maduuka ga Bannayuganda.

Steven Kalule alina edduuka e Juba yategeezezza nti abo abaabadde n’ebyokulya mu bitundu okuli Jebere, Debere baabanyaguludde.

Yagambye nti amaduuka amaggale baagamenye, embeera ya bunkenke nnyo nga waliwo ne bannaabwe be baabadde banoonya nga tebalabikako.

Abajaasi be baabadde bajjudde mu nguudo. “Abajaasi bajjudde amakubo gonna nga n’abaagala okudduka okudda mu Uganda tebalina we basobola kuyita anti abaserikale b’amagye ga gavumenti bajjudde ku nguudo zonna naddala okuva e Juba okutuuka e Nimule ku nsalo ate nga n’ebitebe by’amawanga g’ebweru gye tubadde tutera okuddukira ng’embeera etabuse byakubiddwa kubanga abayeekera baabadde nabo baddukirayo.

Martin Nsereko: Embeera mbi ddala tewali kuyambibwa kwonna amagye gabbye ebyabasuubuzi byonna okubimala mu maduuka.

Ffe tusula okuliraana enkambi y’amagye ey’e Jebere naye abajaasi basitula ebintu okubimala mu maduuka nga babiyingiza ebikomera byabwe era abasuubuzi baffe embeera w’eneetereerera bagenda kubeera ku zeero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bus1 220x290

Cranes egudde mu bintu

Cranes egudde mu bintu

Jip1 220x290

She Cranes etandise okutendekebwa...

She Cranes etandise okutendekebwa

Lib2 220x290

Omwana omulala afiiridde mu muliro...

Omwana omulala afiiridde mu muliro e Katwe

Kat2 220x290

Katikkiro Mayiga agumizza abantu...

Katikkiro Mayiga agumizza abantu ku nsonga y'Amasiro

Kabakamutebiii 220x290

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti...

Kabaka akoze enkyukakyuka mu kabineeti y'e Mengo.