TOP
  • Home
  • Agebwelu
  • ‘Bannaddiini muve ku by’omwoyo byokka muluhhanye ne ku byenfuna’

‘Bannaddiini muve ku by’omwoyo byokka muluhhanye ne ku byenfuna’

By Ali Wasswa

Added 13th July 2016

ABAKULEMBEZE b’eddiini mu ggwanga basiimiddwa olw’okujjumbira enkola ezigenderera okusitula ebyenfuna y’abantu nga balwanyisa obwavu.

Open 703x422

Kalisa (ku kkono), Bp. Mwesigwa nga basala akaguwa okuggulawo ettabi lya SACCO.

ABAKULEMBEZE b’eddiini mu ggwanga basiimiddwa olw’okujjumbira enkola ezigenderera okusitula ebyenfuna y’abantu nga balwanyisa obwavu.

Okusiima kuno kwabadde mu bubaka bwa minisita w’ensonga za Karamoja, Ying. John Byabagambi bwe yatisse omubaka w’e Ibanda, Jovline Kalisa Kyomukama eyamukiikiridde ku mukolo gw’okuggulawo ettabi lya SACCO mu kibuga Ibanda ku Lwokutaano.

Muky Kalisa yategeezezza nti bannaddiini tebalina kukoma ku kulyowa myoyo gyokka wabula n’okubaako engeri gye baluh− hamya abantu mu kulwanyisa obwavu.

Yannyonnyodde nti olw’okwagala okulaba ng’abantu bava mu bwavu, Pulezidenti ky’avudde assa essira mu kulaba nga bbanka y’okwekulaakulanya Uganda Development Bank n’ebibiina by’obwegassi byongerwamu amaanyi n’okulaba nga bbanka y’obwegassi eya Cooperative Bank eddawo.

Muky. Kalisa yasiimye omulabirizi wa Ankole, Dr Sheldon Mwesigwa okutandika enkola y’okulaba ng’abatuuze batandikawo SACCO.

Omulabirizi mu kwogera kwe yeebazizza bakulembeze banne olw’okubeerawo kyokka n’awabula nti ekisinze okusuula SACCO be bakulembeze abadda ku nsimbi eziterekebwa bammemba ne bazeekomya.

Yategeezezza nti musanyufu olw’okuba bukya yatandikawo nkola ya kulwanyisa bwavu okuyita mu nkola y’okutereka n’okwewola, Pulezidenti yabasuula omukono n’obukadde 300 okutambuza enkola eno.

Minisita Byabagambi ne Muky. Kalisa buli omu yawaddeyo obukadde 3 okugenda mu ggwanika lya SACCO.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA