TOP
  • Home
  • Agawano
  • Meeya wa Kampala alaajanidde minisita: "Nnyabo sirina buyinza"

Meeya wa Kampala alaajanidde minisita: "Nnyabo sirina buyinza"

By Hannington Nkalubo

Added 13th July 2016

MEEYA wa Kampala Central, Charles Musoke Sserunjogi ne bakansala ku lukiiko lwe, beecwacwanye mu maaso ga minisita Beti Namisango Kamya nti ennaku gye balimu eyoza lumonde kubanga n’amazzi tebagabawa ate bateeseza mu weema nga batudde ku butebe bwa pulasitiika. Balaajanye nti tebatwalibwa nga bakulembeze.

Minista 703x422

Minisita Betty Namugwanya, Beti Kamya ne meeya Sserunjogi ne RCC wa Kampala, Sarah Bananuka mu lukuhhaana.

MEEYA wa Kampala Central, Charles Musoke Sserunjogi ne bakansala ku lukiiko lwe, beecwacwanye mu maaso ga minisita Beti Namisango Kamya nti ennaku gye balimu eyoza lumonde kubanga n’amazzi tebagabawa ate bateeseza mu weema nga batudde ku butebe bwa pulasitiika. Balaajanye nti tebatwalibwa nga bakulembeze.

“Omukulembeze w’omutima gwa Kampala ayinza atya okuteesa ng’atudde ku butebe bwa pulasitiika, laba emmeeza kwe babisse obutambaala ziringa za mu bbaala.

Tutuuka n’okusaba eccupa y’amazzi naye tewali agikuwa olw’okuba obuyinza bwonna buli wa Jennifer Musisi,” kansala Kikulwe Kaigo bwe yayogedde.

Baabadde bakyazizza minisita wa Kampala Beti Olive Namisango Kamya eyabadde ne minisita we omubeezi Betty Namugwanya n’abakungu okuva mu minisitule eno.

Bakansala baanyiize bwe baasabye basisinkanire minisita Kamya mu Zion Hotel kyokka ne babategeeza nti tewali ssente ne basalawo okubazimbira weema waggulu w’ekizimbe kyabwe.

Meeya Charles Sserunjogi yategeezezza Kamya nti tebasobola kwegulira kintu kyonna wadde okukola ku nsonga y’omutuuze eba egguddewo olw’ensonga y’obuyinza bwonna okuggyibwa wansi ne bwambusibwa waggulu.

Yagambye nti basaba n’ebyenfuna byabwe bitunulwemu kubanga tosuubira muntu kukola mirimu gy’abatuuze nga tazziddwaamu mannyi.

Minisita Beti Kamya yabaanukudde n’abategeeza nti ekimuggye mu ofiisi alambule Kampala kwe kumanya ensonga w’agenda okutandikira ku buli kintu.

N’ategeeza nti tewali bukulembeze butava eri Katonda era buli eyalondebwa n’ayita mu kalulu amussaamu ekitiibwa era ayagala bakolagane bulungi bonna.

Yagambye nti agenda kukakasa nti asisinkana buli muntu mu Kampala alina ensonga omuli aba bodaboda, ab’obutale, aba KACITA, abagagga n’abakolera ku nguudo.

Omubaka Mohammed Nsereko yategeezezza nti Kampala yeetaaga omuntu ayagaliza banne era akimanyi nti agenda kukolagana bulungi n’abakulembeze abafuga Kampala.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kab1 220x290

Gavumenti efulumizza ebiragiro...

Gavumenti efulumizza ebiragiro ebipya ng'emizannyo gizzeemu

Kat1 220x290

‘Teri kukyusa’

‘Teri kukyusa’

Tip1 220x290

Admin FC eyagala Big League

Admin FC eyagala Big League

Byekwaso 220x290

Byekwaso w'emifumbi ateekateeka...

KAFULU wa Uganda mu muzannyo gw’okusiba emifumbi ali mu keetalo nga yeetegekera okugattibwa mu bufumbo obutukuvu...

Tip1 220x290

Omusajja anzigyako abaana

Omusajja anzigyako abaana