Gavumenti ya Uganda yataddewo ennamba ya ssimu +211928302044 n’eragira Bannayuganda kwe baba bakuba, okuweereza obubaka obuwandiike oba WhatsApp okusobola okulaba nga babatuukako.
Gavumenti ya Amerika ng’eyita mu mukungu waayo Susan Rice, yayisizza ekiragiro okulwanagana kukome mbagirawo ne balagira amagye okudda mu bbaalakisi zaago bunnambiro.
Omwogezi w’ekiwayi kya Machar, James Gatdet Dak yategeezezza nti mukama we ali bulungi. Kiir eggulo yabadde akyali musirifu.