Sanyu Katende, 44, ow’e Najjera - Ntinda mwambazi w’abagole era nnannyini Ssanyu Katende Bridals ku kizimbe kya The Arcade.
lBakadde bange ye mwami Sizomu Katongole ow’e Kamuli mu Busoga n’omugenzi Grace Nabukeera. Batuzaala abaana 3 era nga ndi mwana waakubiri. Tetwakula nnyo na taata era ebiseera ebisinga twabimala ne maama e Nakawa gye yatukuliza.
l Yali mukyala mutetenkanya. Yasooka kubeera na saluuni ng’ayokya nviiri z’abakyala mwe yakuhhanya ku kasente n’ayingirira okutunda engoye mu Kiyembe.
l Pulayimale nagitandikira Nakasero naye P7 ne ngitulira ku Namugogo Girls mu 1986. Nneegatta ku St. Joseph’s Nsambya wabula saasobola kutuulirayo S4 kuba maama teyalina bulungi ssente zaayo. Yanziza e Katende gye natuulira S4 mu 1990.
l Okusoma kwakaluba kyokka n’asobola okumpeerera ku ttendekero lya Nakasero College of Business Studies ne nsomayo dipulooma ya myaka 2 olwamala ne nneegatta ku maama okukola.
NTANDIKA OKUKOLA
l Mu 1993 natandika okukola ne maama era ebbanga teryayita ppanvu ne ntandika okuntuma e Nairobi okusuubula ebitambala ne gomesi.
l Mu kukola kino, nafuba okulaba nga buli ssente maama ze yampangayo ng’akasiimo nga nzitereka. Ssente ze natereka zaawera era ng'enda okuzikeberako nga mpezezza 1,200,000/- era eno ye yali etandikwa yange ne mpagisa ekifo ku mitwalo 300,000/- ezaasigalawo ne nsuubulamu engoye.
l Maama bwe yafa mu 2007 , nakizuula nti nnali nnyinza okusala amagezi okwongera ku nnyingiza yange.