TOP
  • Home
  • Ageggwanga
  • Bannayuganda abasuubulira e Juba balojja bwe bafiiriddwa

Bannayuganda abasuubulira e Juba balojja bwe bafiiriddwa

By Benjamin Ssebaggala

Added 14th July 2016

Abasuubuzi tebakyasobola kutwala byamaguzi n’abo ababadde bakolerayo gabeesibye.

Southsudan 703x422

Abaserikale nga bawaga

OKULWANAGANA okwazzeemu e South Sudan wiiki ewedde kwakwongera okukosa Uganda mu byenfuna.

Abasuubuzi tebakyasobola kutwala byamaguzi n’abo ababadde bakolerayo gabeesibye.

Abatambuza ebyamaguzi n’abasuubuzi bategeezezza Bukedde engeri gye bafiiriziddwaamu ate Gavumenti, ssente z’ebadde eggya e South Sudan zizze zeesala okuva obutabanguko lwe bwaddamu mu 2013.

Shaban Nkoto:

Wano mu Kisenyi we tusimba tulina mmotoka ezitambuza ebyamaguzi era obutabanguko we bujjidde nga waliwo mmotoka ezimaze okutikka. Mmotoka bannannyinizo baagala ssente n’ebintu ebimu bye tutwala byonooneka.

Olunaku oluyita nga tetukoze tufiirwa kubanga ekifo we tusimba tusasula 200,000/-. South Sudan ebadde ekwatiridde Uganda mu byensuubulagana ng’abantu bafunayo emirimu, ddereeva avuze mmotoka okugitwalayo asasulwa 200,000/- ate buli lunaku tubadde tusindika mmotoka z’ebyamaguzi wakati wa 2 ne 4.”

DDEREEVA ALEX MUKASA

“Mmotoka okugenda e Juba n’okudda kitutwalira ennaku nnya. E Nimule tusasula wakati wa 70,000/- ne 80,000/-. Bwe tutuuka e Nistu waliwo obubbi bungi bw’ogaana okuyimiriza mmotoka basobola okugiwereekereza amasasi. Kati olutalo okubeerayo nfiirwa kubanga buli loole gye ntwala ne nkomawo bansasula 150,000/-.”

MANEJA MUHAMMED KABOGGOZA

Ono maneja mu Baby Coach ezitwala abantu e Sudan. Gavumenti ngisaba waakiri etukolereyo enteekateeka etuwole ssente tuddemu okutandika obulamu. Abantu bangi tebalina mirimu tubadde tuyiiyiza eyo.

SSENTE UGANDA Z’EFIIRWA:

Minisita w’Obusuubuzi n’amakolero, Amelia Kyambadde yasinzidde ku Media Centre ku Lwokubiri n’ategeeza nti Uganda efiiriddwa ddoola okuva South Sudan lwe yaddamu okutabanguka.

Mu 2013 Uganda yali etunda ebintu bya bukadde bwa ddoola 414, oluvannyuma lw’obutabanguko okubalukawo zakka mu 2014, Uganda n’efuna obukadde bwa ddoola 385 ate mu 2015 Uganda yafuna obukadde bwa ddoola 353.

Eggulo embeera yasiibye nzikakkamu e Juba omwogezi wa Riekh Machar n’ategeeza nti basazeewo okuggya amagye mu Juba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Koma 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze engeri gye baakutte Bobi Wine e Ntebe okumuleeta e Kampala. Eby’afande Kirumira poliisi ebiyingizzaamu...

4218619822279454041062156863652704476987392n 220x290

Abantu beeyiye mu maka ga Bobi...

ABANTU beeyiye mu maka ga Bobi Wine e Magere okumwaniriza.

Kirumiramuhammad 220x290

Amagye gakutte owa Flying Squad...

AMAGYE gakutte omuserikale wa Flying Squad agambibwa okuba mu by’okutemula Afande Muhammad Kirumira.

131736705311775037218421032422864993791094n 220x290

Omusajja gwe baakwatidde ewa Kirumira...

Francis Mayengo omusuubuzi wa sipeeya e Lubowa ku lw’e Ntebe okumpi ne Roofings yakwatiddwa bambega ba poliisi...

Unai 220x290

Emery asonze ku muzannyi gw'agenda...

Banega, muwuwuttanyi era Arsenal yeetaagayo omuzannyi anaaggumiza amakkati.