TOP

Embeera y’eddwaaliro ly’e Namayumba ekaabya

By peter ssaava

Added 17th July 2016

Emifaliso girimu ebituli ng’abalwadde bawalirizibwa okugenda n’egyabwe.

Namayumba1 703x422

Omuwandiisi ku kakiiko k’abavubuka mu Town Council y’e Namayumba, Fred Mulindwa ( ku kkono) ng’alaga ekitanda ekyayonooneka.

Bya PETER SSAAVA

EMBEERA y’eddwaaliro lya Namayumba Health Centre IV, mu disitulikiti y’e Wakiso ekaabya. Ebitanda by’abalwadde byamenyeka, teririna ddagala n’abasawo tebamala.

Eddwaaliro likozesebwa abatuuze b’e Namayumba, Busunju, Kakiri, Masuulita n’ebitundu ebiriraanyeewo ng’embeera gye lirimu eremesezza abantu okugendayo kuba tebafuna bujjanjabi bwe beetaaga.

Bw’otuuka mu ddwaaliro ebitanda byamenyeka nga n’ebiriyo bitono tebimala balwadde era abamu basula ku ttaka. Emifaliso girimu ebituli ng’abalwadde bawalirizibwa okugenda n’egyabwe.

Agnes Lukwago, omu ku balwadde abaasangiddwa mu ddwaaliro lino yategeezezza nti, “Tujja kufuna bujjanjabi naye ekyennaku abasawo tebabeerawo.

Abantu abamu bafa nga bandibadde bawona ate abalina obusobozi bagenda mu malwaliro ag’okusasula,”bwe yagambye.

N’agattako nti amaze ennaku nnya mu ddwaaliro kyokka tafunanga ku bujjanjabi era kye yasazeewo kwe kugenda mu bulwaliro obuliraanyeewo n’aggulayo eddagala. Yagambye nti abasawo batono nga n’abaliwo bakola lunaku lwe babeera baagadde nga ne bwe babeerawo okukwata ku mulwadde basooka kumusaba ssente.

Agnes Nakityo, eyazaalira mu ddwaaliro lino yategeezezza nti, abakyala bagenda mu ddwaaliro nga balumwa kyokka abasawo tebabafaako nga bwe balaba omuntu alemeddwa nga bamusindika e Mulago Ng’oggyeeko obutaba na bujjanjabi, eddwaaliro teririna ggwanika ng’omuntu bw’afa abooluganda lwe ne batamutwalirawo, bamussa wansi w’ekitanda.

“Kino kireeta ensinsi ey’amaanyi wamu n’ekivundu”. Ssentebe w’olukiiko olufuga eddwaaliro, Lawrence Kyeswa yategeezezza nti waliwo obuzibu mu kujjanjaba abalwadde kuba abasawo abamu tebasiiba ku ddwaaliro, bwe bamala okussa omukono mu kitabo ekiraga nti batuuse ku mulimu nga bagenda mu byabwe.

N’agamba nti abeera avudde ku ddwaaliro ne bw’omukubira essimu nga waliwo omulwadde gw’oyagala ajjanjabe takitwala nga nsonga, akomawo bw’abeera ayagadde.

N’agamba nti balina n’obuzibu bwa kaabuyonjo kuba ezimu zajjula ate ng’abantu abazikozesa bangi.

Akulira ebyobulamu mu disitulikiti y’e Wakiso, Emmanuel Mukisa yagaanyi okubaako ky’ayogera ku nsonga zino.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Omwanangaluaekikajjyo11webuse 220x290

Endabirira y'amannyo g'omwana eneegakuuma...

Okuziyiza amannyo g'omwana okulwala mu bukulu otandika mu buto okugayonja n'okugajjanjaba.

Katereggangalagaapozatundawebuse 220x290

Okutunda apo nkuguzeemu embuzi...

Nasooka kusiika capati e Iganga ne nzija e Kampala okutunda apo mwe nfuna 200,000/- omwezi era nguzeemu embuzi...

Sserunkuuma2webuse 220x290

Ebbumba eryenyinyalwa abasinga...

Bulikye mmumba nkijjuukirirako maama eyambeererawo mu bulamu kyokka n'atabaawo kugabana ku ntuuyo ze.

Kap2 220x290

Agambibwa okusobya ku w’emyaka...

Agambibwa okusobya ku w’emyaka 78 bamulagidde yeewozeeko

Muv1 220x290

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa...

Ebizibu ebizze bigwa e Rakai ebitalyerabirwa Kennedy Kyakuwa